TOP

Okutikka akabindo kitta mmotoka yo

Added 8th August 2019

Okutikka akabindo kitta mmotoka yo

BADDEREEVA b'ebidduka ebya buyonjo n'ebikozesebwa okunoonya ssente okuli loole, takisi, bbaasi n'ebirala babitikka obuzito obuyita kw'obwo bwe zirina okutikka ekibiviirako obutawangaala , Lameka Makubuya makanika omukugu mu galagi ya Kyebando Auto Galagi alaze obulabe bw'okutikka n'oyita mu buzito obwagikolebwa
Mmotoka zikolebwa nga buli emu erina obuzito bw'erina okutikka okuva ku kkiro okutuuka ku ttani ng'abavuzi b'ebidduka wano naddala ebikola bizinensi okuli Loole, takisi, bbaasi n'ebirala tebabigoberera ekivaako mmotoka okufuna obuzibu ebyandiwangadde emyaka 7 bikolayo emyaka esatu ne bikwama.
 
Mmotoka ezitikka okuva ku kiro okutuuka ku ttani(ttani emu erimu kiro 1000), Fuso etikka ttani 4 wabula abamu obasanga bazitisse 10 n'omusobyo, obumotoka obwakazibwako obuyongeza bulina kutikka kiro 400 naye babutikka ttani nnamba, Isuzu Elf erina kutikka kkiro 2500 naye osanga babutisse ttani 4 oba 5.
Kabangali Sahara yakolebwa kutikka ttani emu.
 
Olwa baddereeva okwagala ssente batikka ttani 2 n'omusobyo.Tipa magulukkumi erina kutikka ttani 7 n'ekitundu naye bagitikka ttani 12 okudda waggulu, mmotoka eringa muntu, singa togibalirira n'ogitikka obuzito obutali bwayo ekozesa amaanyi mangi.
 
Olusozi lwe wandiyiseeko ng'oli mu ggiya nnamba 4 eyitako ng'eri mu ggiya nnamba 2. Wano yingini eba ezitoowererwa n'ebyuma ebirala ky'ova olaba ng'oluusi mmotoka ezitisse obuzito ziremererwa okulinnya ensozi ne zikola obubenje. Ebyuma ebirala ebiba byonooneka kuliko sekabuzooba, ekitanda, emipiira, sseppulingi zikutuka, ekuba liimu n'ebirala
Abatikka akabindo bawalirizibwa n'okusitula mmotoka ne bakyusa n'ebimu ku byuma byayo ebyakolebwako ne bateekako ebirala. Ebikyusibwa ku mmotoka ennene kuliko Ssekabuzooba, sseppulingi n'e mipiira ne baggyako ebyakolebwako ne bateekako ebirala .Fuso magulu 10 bagyongerako ekyuma kye bayita akisolo ne bateekako emipiira emirala 4 ne gifuuka 14.
 
Mmotoka 70% ezikola obubenje eziretebwa e Bwaise - Mambule okuzitema sipeeya obuzibu buva mu kuzisitula mu bbanga bwe zibeera ku luguudo teziggumira wansi, eba ekankanka mu maaso lwa kukyusa byuma n'ossaako ebitali byayo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....