TOP

teguyNannyini ttaka bamutemyeko omutwe

Added 9th August 2019

teguyNannyini ttaka bamutemyeko omutwe

 Eyattiddwa Kamada Mulinde Kimbugwe.

Eyattiddwa Kamada Mulinde Kimbugwe.

NANNANYINI ttaka eriwerako mayiro nnamba e Mityana abadde ayise olukuhhaana n'abeebibanja abali ku ttaka lye ng'ayagala beegule, era ng'awandiiise ebbaluwa eziyita aboobuyinza omuli ne minisita w'ebyettaka nabo balwetabemu.

Kyokka ng'ebula ennaku ntono olukuhhaana okubaawo, abeebibanja baamufumbiikirizza emisana ttuku ne bamugwako ekiyiifuyiifu ne bamutemako omugwe ne gugwa wali!

Ng'omutwe gwa nannyini ttaka bamaze okugutemako, beeteesezza okugutwala bagusuule mu kisaalu naye baabadde bagukulubbya, ne beekyusa nti omutwe guyinza okubakwasa, kwe kugokomyawo okumpi n'ekiwuduwudu ne bagutemaatema obulere okulaga obukambwe bwe balina.

Bwe bamaze okutemaatema omutwe, baddidde ekiwuduwudu ne bakitemako emikono oluvannyuma ne bakwata pikipiki y'omutaka ono ne bagisuula ku mulambo, ne bakutulakutula ebisubi n'ebikoola by'emiti ne babikasuka ku mulambo nga bwe bagufujjira amalusu nti olwo omuzimu gwe gwabadde teguyNannyiniinza kubalondoola.

Ettemu lino lyabadde ku kyalo Minana mu divizoni y'e Ttamu mu munisipaali y'e Mityana ku ssaawa nga 10:00 ez'olweggulo ku Lwokusatu.

Eyattiddwa ye Kamada Mulinde Kimbugwe nannyini ttaka erisangibwa ku Block 139 nga liri ku byaalo bina okuli; Kabule, Galabi, Kamuvole ne Minana mu disitulikiti y'e Mityana nga liwerako yiika 640. Wabula ng'embiranye ebadde ku ttaka lya yiika nga 200 ku kyalo Minana ekisangibwa mu munisupaali y'e Mityana.

LANDIROODI YABADDE AYISE MINISITA NAMUGANZA

Mutabani we Ashiraf Mubiru yategeezezza Bukedde nti kitaawe okuttibwa mu bukambwe butyo, abeebibanja baamuteeze yaakadda ku kyalo ng'ava e Kampala mu ofiisi ya minisita omubeezi ow'Ebyettaka, Persisi Namuganza ng'amutwalidde ebbaluwa emusaba okwetaba mu lukiiko ng'asisinkana abeebibanja abasobole okwegula beegule. Minisita Namuganza yabadde amukakasizza nti, waakugenda ku kyalo Minana nga August 13, 2019 ye wiiki ejja atuuze olukiiko wakati wa landiroodi n'abeebibanja batuuke ku nzikiriziganya.

Ettaka ly'e Minana kuliko amaka amanene ana: aga Fred Kayongo, Alice Nakiryowa, John Kkulumba ne Rev. Fr. Lawrence Yawe Mudduse era Mulinde olwakomyewo ku kyalo n'ayokesaamu mu bbaluwa minisita gye yamuwadde n'agitwala ku poliisi okugitegeezaako endala n'agenda ku kyalo okuzigabira abatuuze.

Kyokka bwe yabadde abuzaayo mmita ntono okutuuka ku batuuze be yabadde ayagala okugabira ebbaluwa abantu abatannategeerekeka ne bafubutuka awantu ne bamukwata ne bamutemaatema. "Basoose kumukwata ne bamujja ku pikipiki ne bamukuba ekigwo okumpi n'omusiri gw'emmwaanyi ogwa John Kulumba omu ku beebibanja abali ku ttaka lye.

Mu kaseera katono baabadde bamaze okumutemako omutwe nga gugudde wali ne batakoma awo ne baagufumitafumita ebiso n'akalevu konna ne bakakoona ne nnyondo ne kabetenteka, emikono ne bagitemako", bwe yagambye.

BABADDE BAAMWEGEZAAMU DDA

Jamada Musisi abadde mukwano gw'omugenzi agamba nti, ono agenze okuttibwa ng'amaze ebbanga ng'ayogera n'abasenze be ng'ayagala beegule era olumu baali bombi ne balumbibwa ne bakubibwa. "Abasajja baatulumba ne batukuba nga ndi naye era ssewuunya okulaba nti ate kati atemuddwa ," Musisi bwe yayongeddeko.

Omugenzi kigambibwa nti agenze okuttibwa ng'ensonga z'ettaka lye yazitusizza ewa minisita Namuganza era abaddeko olukiiko lw'ategeka nga ne minisita abadde asuubirwa okulubeeramu. "Abadde atambuza bbaluwa ng'ayita abantu mu lukiiko lwo era bye bimu ku birowoozesa abantu nti, bye byamussizza," Musis bwe yagambye. Poliisi yatutte embwa ekonga olusu ne yeeteoloola ekyalo kyonna kyokka tewali muntu yakwatiddwa.

Poliisi era ng'ekulembeddwaamu omukugu waayo eyategeerekese nga Afrons Mangeni yaggyeeyo omulambo gw'omugenzi n'egutwala mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mityana okwongera okwekebejjebwa. Abatuuze balaze obwennyamivu olw'engeri ensonga z'ettaka gye zongedde okuleeta obulabe mu bitundu by'e Mityana. "Yadde waliwo ebikoleddwa okutaasa ekisengula bantu, ate byo bikyeyongera bweyongezi era kati bino bye bibala ebitandise okuvaamu.

Wabula tusaba Gavumenti era ereme kusirika busirisi, wabula eyongeremu amaanyi okulwanyisa ekibba ttaka," bwatyo Nnaalongo Fatuma Namuleme omu ku bakungubazi bwe yagambye.abeebibanja Abraham Luwalira yagambye nti, abadde tannaba kufuna kwemulugunya kwonna ku batuuze abali ku ttaka eryo era n'avumirira ekikolwa ekyo eky'obutemu.

ALESE BANNAMWANDU BASATU

Omugenzi yalese abakyala basatu okuli Fatuma Nakityo nnamba emu, Madina Naluyange nnamba bbiri ne Scovia Nantale n'abaana 15. Bakyala b'omugenzi bategeezezza nga bbaabwe bwe yabadde n'enkaayana ku ttaka n'abasenze ng'aludde ng'abasaba okwegula ne bagaana.

Basabye Pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga zaabwe basobole okusigaza ettaka ly'abaana. Bannanamwandu bonna balekeddwa mu bupangisa. Omwogezi wa poliisi y'e Wamala Nobert Ochom yagambye nti omusango gw'obutemu gwagguddwaawo ku fayiro nnamba CRB/518/2019. RDC w'e Mityana Isha Ntumwa yategeezezza nti poliisi yatuuseeyo ku kyalo Minana okunoonyereza kyokka yasanze abatuuze bonna badduse ku kyalo mu mayumba temuli muntu n'omu.

BASATU BAKWATIDDWA OKULI NE SSENTEBE W'EKYALO

Yagasseeko nti oluvannyuma baasobodde okukwatako abantu basatu okuli ne ssentebe w'ekyalo Minana, Ibra Muyingo nga kigambibwa nti yabadde yawoma omutwe mu nkiiiko ezibadde zituuzibwa ku kyalo okwewerera Mulinde.

Abaakwatiddwa n'abalala abanAakwatibwa bonna yagambye nti baAkutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe omusango gw'obutemu. Ate abatuuze abalala ku kyalo abasinga badduse ne baleka amaka gaabwe nga temuli muntu yenna olw'okutya poliisi okubayoola.

Ettemu lino okubaawo nga waliyo abantu basatu abaakatebwa okuva mu kkomera okuli ssentebe w'ekyalo Ttamu Cell nga kigambibwa nti, bano baakuba nannyini ttaka, eyali asenda emmere y'abatuuze. Ssentebe ono Charles Ssekandi ne banne, balumiriza nti, omugagga Dickson Ssanyu Kigozi yatwala guleeda nga akuumibwa poliisi n'asenda poloti ya munnaabwe Yakobo Nsubuga era abatuuze ne bava mu mbeera ne bakuba Ssanyu n'asibira ku kitanda mu ddwaaliro e Mityana.

Mu divisoni y'emu era e Ttamu waliwo omutuuze eyeemulugunya ng'agamba nti yadde ebitongole eby'amaanyi bibadde byasalawo ku nsonga z'ettaka lye, naye babadde bamukubira amasimu okumutiisatiisa, naye abamukubira olwakwatiddwa tebaasuze yadde ku poliisi ne bateebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...