TOP

KCCA etabukidde abagagga mu Kampala

Added 9th August 2019

KCCA etabukidde abagagga mu Kampala

 Bakansala nga bateesa ku bizimbe.

Bakansala nga bateesa ku bizimbe.

KCCA enoonyereza ku bizimbe bya bagagga 103 abagambibwa okukolagana n'abakungu ku lukiiko olufuga ettaka mu Kampala ne bakyusa ebyapa by'ebizimbe okuva mu nkola ya liizi ne bidda mu bwannannyini obwenkomeredde.

KCCA erumiriza nti abaakyusa ebizimbe bino tebaagoberera mitendera mituufu era singa bitwalibwa mu nkola eyo Gavumenti eyolekedde okufiirwa omusolo gwa kawumbi kamu n'obukadde 100 buli mwaka.

Omumyuka wa dayirekita wa Kampala, Samuel Sserunkuuma yategeezezza olukiiko olufuga ekibuga nga lukubirizibwa Loodi Meeya Erias Lukwago nti okukyuusa ekyapa okuva mu liizi wateekwa okubeerawo okusaba era KCCA temala gakkiriza naye bazudde nti emitendera egyagobererwa mikyamu.

"Tutaddewo bambega ba poliisi abakugu n'abakozi ba KCCA banoonyereze engeri bannannyini bizimbe bano gye baayagala okwepenamu omusolo gwaffe era abeenyigira mu ntegeka eno bagenda kuggulwako emisango," Sserunkuma bwe yagambye.

Abalala kuliko Franklin Kugonza Plot 16 , Olive Nanziri Plot 10 Mbuya Hill, Timonty Masembe Kanyerezi Plot 47 A 1 Spring Road, Ssali Musoke Plot 2 Ismail Road, Family Loaf Bakery Ltd 17 Old Masaka Road, Royal Park Kampala Road.

Lipooti yalaze nti ebizimbe bino liizi zaabyo zaakyusibwa nga Gavumenti eyimirizza okukyusa liizi oluvannyuma lw'omwaka gwa 2015 era KCCA yabuliddwa empapula entongole mu mateeka okukakasa nti bannannyini byo baagoberera emitendera emituufu.

Lukwago yeewuunyizza abakungu ba kakiiko abeenyigira mu kuyamba bannannyini bizimbe bino okubikyusa era dayirekita Samuel Sserunkuuma n'alagira baseewo bambega ba poliisi bayambe ku bakozi ba KCCA abagenda okunoonyereza ku bizimbe bino. Lukwago yawadde wiiki bbiri ng'akakiiko kazudde buli fayiro ekwata ku kizimbe ky'omugagga ekyakyusibwa liizi okudda mu byapa by'obwannannyini obwenkomeredde oluvannyuma lw'omwaka gwa 2015 nga Gavumenti eyimirizza.

EBIRALA EBIRI MU LIPOOTA

Lipooti yayanise abadde akola nga dayirekita w'amateeka mu KCCA, Charles Ouma nti bwe yali agenda okulekulira yakola endagaano ku musango ogumu ng'ekitongole tekimukkirizza ne kifiirwa obuwumbi busatu n'obukadde bitaano era olukiiko ne lumuyita akomewo mu kakiiko abannyonnyole engeri gye yeetumiikiriza n'afiiriza ekitongole obuwumbi bwa ssente.

Akakiiko akaafulumizza lipooti eno kakulirwa Kenedy Okello nga katuulako abakozi ba KCCA era kaweereddwa obuyinza okutunuulira n'endagaano za bammemba abatuula ku lukiiko olufuga ettaka mu Kampala okulaba ekiseera endagaano zaabwe bwe ziggwako. Lukwago yalagidde nti emivuyo egiri mu ttaka gyenyigiddemu abakungu bangi.

ABANOONYEREZEBWAAKO Hajj Kiyemba ku plot 15 Nakivubo Road, Guster Lule mu plot 14 Nakivubo Road, Jim Muwhezi plot 7 William Street, Kyadondo Rugby Club Plot 3-7 Coronation Road, Deusdedit Kakeeto plot 78A Ben Kiwanuka Street, Hussain Hassan Ali plot 2 A1 Corryndn Street, Apollo Nyegamehe ku 17 B William Street.

Abalala kuliko Charles Lubega mu Plot 24 Price Charles Drive, Frank Ssonko plot 5 Luwum Street, Ddembe lyo Telcoms 23 A Luwum Street, Ismail Kayongo plot 9 Nakivubo Road, Janat Nakayima Plot 11 Wampewo avenue, Petro Uganda Ltd Plot 10 Mackay Road, Vincensio Kakooza Plot 68 Sixth Street, Ntakke Bakery Undanda Ltd Plot 30 Luwum Street, Kiwatule Estates Plot 42A Upper Terace, Kampala Hospital Ltd Plot 6C makindu Close, Tom Mugerwa Plot 10 Impala avenue , Janat Nakayima Mukasa 38 A Impala Avenue.

Abalala kuliko Franklin Kugonza Plot 16 , Olive Nanziri Plot 10 Mbuya Hill, Timonty Masembe Kanyerezi Plot 47 A 1 Spring Road, Ssali Musoke Plot 2 Ismail Road, Family Loaf Bakery Ltd 17 Old Masaka Road , Royal Park Kampala Road

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...