TOP

Luggya Lwasi afudde ku lunaku lwe yagattibwa

Added 10th August 2019

OMUGENZI Ezekiel Luggya Lwasi afudde alese omukululo mu bintu eby’enjawulo ng’ebyenjigiriza, ebyeddiini, ne mu bulamu obwa bulijjo.

 Omugenzi Luggya Lwasi

Omugenzi Luggya Lwasi

Bya JOANITA NANGONZI

Luggya Lwasi yafiiridde ku myaka 75, ku lunaku lwennyini kwe yabadde agenda okujagulizaako emyaka 49 gy'abadde yaakamala mu bufumbo obutukuvu ne mukyala we Miriam.

Okusinziira ku mutabaniwe Rev. Steven Lumu ow'obusumba bwe Namayumba yagambye nti kitaabwe alwalidde ennaku ssatu ng'abadde alumizibwa mu lubuto olwavudde okufa kwe. Yafiiridde mu ddwaaliro ly'e Mengo.

Miriam Luggya Lwasi, Nnamwandu w'omugenzi yagambye nti omugenzi abadde musajja alina omukwano gy'ali era ng'ekimu ku bigenda okumusigala ku mutima kwe kuba nga yafudde ku lunaku lwe baagattibwa mu bufumbo obutukuvu era nga babadde bateeseteese okujaguza emyaka 49.

Yagambye nti omugenzi abadde asembeza buli muntu ate ng'ayagaliza era abantu bangi baazimbye. Rev. Fredrick Mubiru yagambye nti omugenzi ekoleredde Ekkanisa y'e Kawuku ng'abadde ku lukiiko oluzimba ekkanisa ya St. Johns' Kawuku.

Yagambye nti omugenzi yamukubira essimu wiiki ewedde n'amugamba nti nga August 8, 2019 bagenda kujaguza emyaka 49 mu bufumbo obutukuvu era n'amusaba okubeerawo wabula kyamwewuunyisizza okuwulira nti yafudde ku lunaku luno.

Elizabeth Faith Nakingi Mukisa Lwasi Mukeere ng'ono muwala w'omugenzi yategeezezza nti kitaabwe abadde alina omukwano eri abaana be ng'abadde akola naye ku ssomero lya International Institute of Bussiness and Media Studies.

Yagambye nti abadde musajja mukozi ng'abadde alina faamu e Mpigi era abadde abayigiriza okukola.

Yayongeddeko nti abadde musajja musomesa anywerera ku mazima ng'abadde atendeka bannamawulire okukola omulimu gwabwe n'amazima n'obwensimbi baleme okwonoona amannya gaabwe.

Omugenzi agenda kuziikibwa ku Lwokubiri lwa wiiki ejja e Mpigi -Nakaseeta e Ziroobwe mu Bulemeezi.

EBIMU KU BYAFAAYO BY'OMUGENZI

Yazaalibwa mu 1944, n'agattibwa ne mukyalawe mu bufumbo obutukuvu mu 1969, ng'alese abaana bataano okuli abalenzi babiri n'abawala basatu Abadde musomesa omutendeke eyasomesa okumala ebbanga ddene mu masomero ag'enjawulo, okuli n'okubeerako omukulu w'essomero lya Kyaggwe Road PS.

Mu 1994, yatandikawo essomero erisomesa amawulire eriyitibwa International Institute of Business and Media Studies mwasomeserezza bannamawulire bangi abakola mu bitongole eby'enjawulo mu ggwanga.

Abadde atuula ku kakiiko akategeka ebisomesebwa mu madendekero g'eby'amawulire . Awandiise ebitabo ebiwerako omuli n'ekikwata ku kwanjula mu Buganda.

Abadde yatandikawo kaweefube w'okusomesa abantu ku kkansa akwata abasajja (prostate), eyeegumbulidde okutta abasajja abatuuse mu myaka 40.

Y'omu ku baawoma omutwe okuzimba ekijjukizo kya bajulizi Abakulisitaayo e Namugongo ng'akola n'omugenzi Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo, era nga mu kiseera kino, omulimu guno yabadde agukulembera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...