TOP

Eyali omubaka Bbosa akubye embaga makeke

Added 10th August 2019

EYALI omubaka wa Palamenti owa Mawokota South, Kenneth Joseph Kiyingi Bbosa akubye embaga makeke.

 Katikkiro Mayiga (addiridde abagole ku kkono) bazadde ba Bbosa , Ssaalongo Joseph Lutalo Bbosa (mu kkooti eya bbulu) ne mukyala we. Okuva ku ddyo, Joyce Ssebuggwawo addiriddwa bazadde b’omuwala Roy Mayinja ne mukyala we, Namasole Ruth Nakirijja.

Katikkiro Mayiga (addiridde abagole ku kkono) bazadde ba Bbosa , Ssaalongo Joseph Lutalo Bbosa (mu kkooti eya bbulu) ne mukyala we. Okuva ku ddyo, Joyce Ssebuggwawo addiriddwa bazadde b’omuwala Roy Mayinja ne mukyala we, Namasole Ruth Nakirijja.

Yagattiddwa omusumba omuggya ow'essaza ly'e Masaka, Bp. Serverus Jjumba era bano be bagole be yasoose okugatta bukyanga afuuka musumba. Omukolo gwabaddewo ku Lwokutaano mu Lutikko e Lubaga.

Gwetabiddwaako Katikkiro Charles Peter Mayiga, ne bakatikkiro abaawummula, Dan Muliika ne Mulwanyammuli Ssemwogerere.

Oluvannyuma lw'okugattibwa, abagole baagenze butereevu ku Forest Park Beach e Buloba gye baasemberezza abagenyi baabwe abasusse mu 3,000, okwabadde abagagga b'omu Kampala ssaako abasama okuva e Bungereza, omugole Renah Nassuuna Kiyingi gy'akolera.

Amerika ne German, Bannamawokota Bbosa gye yali akiikirira, bafaaza ne bannaddiini abalala.

Katikkiro Charles Peter Mayiga, yawadde abavubuka amagezi abali mu bifo eby'obuvunaanyizibwa okukimanya nti omusajja yenna oba omukyala alina okubeera n'omubeezi ng'ate bali mu bufumbo obutukuvu kubanga kino kyongera abantu okubeesiga.

Yayongeddeko nti: "Era ssebo Kenneth Kiyingi Bbosa emabegako wali mubaka wa palamenti akiikirira Mawokota nga tolina mukyala, wabula abantu ne bakwesiga. Kati k'ofunye omubeezi ate obwesige bujja kweyongera." Katikkiro yategeezezza nti bazadde b'abagole abamanyi bulungi okuli Joseph Lutalo Bbosa omusuubuzi mu Kikuubo n'omukyala Nnaalongo Bbosa nti ne bwe yali tannafuuka Katikkiro baali mikwano gye, bwatyo n'abasanyukirako.

Omugole omukazi azaalibwa Abagenyi abalala baavudde mu Namasole Ruth Nakirijja owa Ssekabaka Jjemba ate taata ye Roy Mayinja.

Ye Omusumba Jjumba yagambye nti abagole bano baamukisa kuba be yasookeddeko okugatta bukya afuuka Omusumba omujjuvu era nga si ye yabadde agenda okubagatta, naye Ssaabasumba Lwanga yamusabye amukiikirire era teyasibyemu kubanga omubaka Kiyingi aludde ng'amumanyi ne bazadde be bantu baddiini nnyo ate ab'obuvunaanyizibwa.

Yabasabye bakulembezenga Katonda mu buli kye bakola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...