TOP

Bamubuzizzaawo okuva ewuwe

Added 12th August 2019

Bamubuzizzaawo okuva ewuwe

ABANTU abatannategeereka bakubidde ssemaka essimu ekiro ku ssaawa ssatu n'afuluma ekikomera kye e Bweya mu Town Council y'e Kajjansi ne bamubuzaawo n'essimu ze ne baziggyako.

Jane Kizza mukyala wa James Kalumba yategeezezza nti ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, yali ne bba mu nnyumba ku ssaawa ssatu omuntu n'amukubiru essimu ne boogera ekiseera ekitali kiwanvu.

Ekyaddiridde bba kufuluma nnyumba n'aggula n'ekikomera mu makage agali ku kyalo Bweya-Bulonde nga talina gw'abuulidde ku gw'agenda okusisinkana. Kalumba yali akolera Motor Care mu Kampala ku luguudo lwa Jinja Road wabula ng'abadde yaakawummuzibwa ku mulimu mu March w'omwaka guno.

Kizza n'abaana baakanze kulinda muntu waabwe akomewo naye nga tadda. Tebaasoose kutya nga balowooza nti osanga alina gwe yabadde ayogera naye wabweru w'ekikomera.

Obudde bwe bweyongedde okuyita nga tadda, baafulumye okulaba oba ali wabweru gye baabadde bamusuubira kyokka nga tebamulabako olwo emitima ne gibeewanika.

Kizza ayongerako nti yabiipinze ku ssimu ya bba n'eyitamu ng'asuubira nti yabadde agenda kumukubira nga bulijjo wabula n'atamukubira. Wano obunkenke bwabeeyongedde kubanga omuntu waabwe abadde tagenda wantu nga tababuulidde.

Baagenze ku poliisi e Kajjansi ne baggulawo omusango gw'okubula kw'omuntu waabwe oguli ku fayiro SD: 21/09/08/2019 ne batandika omuyiggo wabula n'okutuusa kati tewali mawulire gonna ge baafunye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abawagizi ba NUP nga bakulisa Zaituni maama wa Nsubuga.

Owa NUP gwe baasiba mu kkom...

Muhamad Nsubuga owa NUP eyakwatibwa gye buvuddeko n’atwalibwa mu kkomera e Kitalya awangudde obwa kansala. Bazadde...

Emmanuel Sserunjogi ng'akuba akalulu.

Abakadde bajjumbidde okulon...

ENKUBA yataataaganyizza okulonda e Kawempe ekyawalirizza okusengula ebikozesebwa okulonda okubiteeka mu bifo ebirala....

Abantu nga basitudde Kibirango eyawangudde obwassentebe.

NUP yeeriisizza nkuuli e Lu...

EKIBIINA kya NUP kyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa gavumenti ez’ebitundu mu kitundu ky’e Luweero nga ku...

Lumu eyakubiddwa.

Avuganya ku bwakansala bamu...

JOE Lumu avuganya ku bwakansala bw'omuluka gwa Makerere 1 e Kawempe bamukubye ne bamwasa emimwa n'okumunyagako...

Hajjati Sarah Nannyanzi (ku kkono), Abel Bakunda amudidde mu bigere ne RDC w'e Kalungu, Caleb Tukaikiriza.RDC

Ssebo kolagana bulungi n'ab...

ABADDE omumyuka wa RDC mu Disitulikiti y'e Kalungu Hajjati Sarah Nannyanzi awaddeyo woofiisi eri Abel Bakunda amuddidde...