TOP

'Abakristu mube bagabi'

Added 12th August 2019

Bwana mukulu w'ekigo ky'e Matugga alumbye Abakristu abakodo nga Katonda abaggonomoddeko emikisa

Paul Zhang (ku ddyo) maneja wa Tian Tang Group n’addiriddwa Fr. Warzecha

Paul Zhang (ku ddyo) maneja wa Tian Tang Group n’addiriddwa Fr. Warzecha

 
BWANA mukulu w'ekigo ky'e Matugga, Rev Fr. Marek Warzecha alumbye  Abakristu abakodo n'asaba bulijjo abalinawo babeenga n'omutima omugabi nga baddiza ku batalina kw'ebyo katonda by'abawadde.
 
Warzecha yabyogeredde mu mmisa gye yakulembeddemu ku klezia ya St. Immaculate Catholic e Kitakuta-Matugga, ku Ssande omwabadde n'okusondera ssente ez'okumaliriza okuzimba Klezia yaawo. 
 
Warzecha yagambye nti abantu bangi Katonda abawadde ssente ze beetaaga naye olw'obukodo ne batabaako be bayamba babali kumpi newankubadde okutoola ku mirimu gya Katonda nga gwe baliko okuzimba Klezia y'ekitundu ogukolebwa kati..
 
Mu mmisa, aba kkampuni ya Tian Tang baddukiridde omulimu n'obukadde 10 kyokka era ne basuubiza n'okwongera ku buyambi obwo. Badduukiridde n'abakadde n'abateesobola n'ebintu okwabadde emifaliso, butto, ssabbuuni n'ebirara.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...