TOP

'Muleke aba P7, S4 ne S6 bawummulengamu'

Added 12th August 2019

OMULAMBUZI w’amasomero omukulu mu munisipaali y’e Mukono, Olivia Bulya asabye abakulira amasomero, abasomesa n’abazadde okuwa abayizi abali mu bibiina okuli P.7, S.4 ne S.6 abeeteekerateekera okukola ebigezo eby’akamalirizo obudde bawummule oluvannyuma lw’okukola ebigezo eby’okwegezaamu (Mock).

 Bulya ng’ayogerako eri abayizi.

Bulya ng’ayogerako eri abayizi.

Yabadde ku ssomero lya Pherry Junior School e Mukono mu kulawuna amasomero aga pulayimale ag'enjawulo mu munisipaali y'e Mukono agaabadde gakola ebigezo by'okwegezaamu (MOCK) eby'ekibiina kya P.7 ebitegekebwa munisipaali y'e Mukono ku Lwokubiri.

Yatusseeko ne mu masomero okuli Namiryango Junior Boys P/S, Seeta Boarding P/S, Nyenje C/U ne New Horizon.

Bulya yagambye nti ennaku zino amasomero galina enkola y'okuwa abayizi baabwe ebigezo by'okwegezaamu eby'olutatadde ekiyinza okuleetera ate abamu okukooya abayizi ne babeera mu kweraliikirira buli kadde.

Yabadde n'omumyuka wa munisipaali y'e Mukono, Jamada Kajoba naye yabaddeko mu kulambula amasomero okulaba ng'enteekateeka eno egenda bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....