TOP

'Temukkiriza bwavu kusensera maka gammwe'

Added 12th August 2019

ABAKRISTAAYO bakubiriziddwa okukola ennyo bagobe obwavu mu maka kubanga busindika bangi mu bikolwa ebitaweesa Katonda kitiibwa nga banoonya okufuna ssente ez’amangu.

 Ssaabadinkoni Ven. Silas Musoke (ataddeko olukoba oluddugavu okuli akamyufu) n’abamu ku bakulembeze ba Fathers’ Union. Owookubiri ku ddyo (ku layini eya wakati) ye Muky. Katende eyabuulidde ng’abaami mu bussaabadinkoni buno bakuza olwa Petero ku Ssande.

Ssaabadinkoni Ven. Silas Musoke (ataddeko olukoba oluddugavu okuli akamyufu) n’abamu ku bakulembeze ba Fathers’ Union. Owookubiri ku ddyo (ku layini eya wakati) ye Muky. Katende eyabuulidde ng’abaami mu bussaabadinkoni buno bakuza olwa Petero ku Ssande.

ABAKRISTAAYO bakubiriziddwa okukola ennyo bagobe obwavu mu maka kubanga busindika bangi mu bikolwa ebitaweesa Katonda kitiibwa nga banoonya okufuna ssente ez'amangu.

Bino byababuuliddwa Muky. Barbra Katende, abaami abafumbo ab'Obussaabadinkoni bw'e Gayaza mu Bulabirizi bw'e Namirembe bwe baabadde bakuza olunaku lwa Petero.

Okusaba kwabadde ku kkanisa ya St. John e Kanyanya ku Ssande nga kwetabyeko Ssaabadinkoni w'e Gayaza Ven. Silas Musoke, Pulezidenti wa Fathers' Union e Namirembe Wilber Naigambi n'abakungu abalala.

Muky. Katende yabakubirizza obuteesembereza bantu abatalina kye babagattako okuggyako okubatoolako n'agamba nti abo baliwo kubanyuunyunta n'okubasiba mu bwavu.

Yasabye abakyala okukomya okutuula obutuuzi awaka wabula bakole bagatte ku nsimbi z'abaami, amaka gaabwe gabeeremu essanyu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...