TOP

Babakutte bawandiika abaazirwanako ab'empewo

Added 12th August 2019

ABEEBYOKWERINDA bagudde mu lukwe lw’abajaasi olw’okubba ssente z’abaazirwanako eziri eyo mu buwumbi ne bakwatako babiri.

 Kasule ng’asangula amaziga oluvannyuma lw’okukwatibwa.

Kasule ng’asangula amaziga oluvannyuma lw’okukwatibwa.

Kigambibwa nti babadde bakolagana n'abamu ku banene mu minisitule y'ebyokwerinda n'ensonga z'abaazirwanako gattako abantu ba bulijjo.

ISO ye yakutte abantu bano okuli John Kato Kasule 45, omutuuze w'e Kabojja mu Kyengera ne Sgt. Patrick Mwondah akolera mu tterekero ly'ebiwandiiko by'amagye mu nkambi e Bombo.

Kasule yakwatiddwa ku Lwokusatu e Kakiri mu Wakiso ate Mwondah baamukwatidde Moroto gye yabadde agenze okuwandiika abantu abalala.

Kasule yakkirizza nti babadde bawandiika abantu ba bulijjo nga babafudde abaazirwanako abagenda okusasulwa.

Yagambye nti, okusisinkana Mwondah, yali awerekeddeko mukwano gwe, Sulait Ssenkaali eyali agoba ku by'akasiimo ka muganda we eyafa mu 2016.

Yagambye nti, baabakwasa Mwondah okukola ku nsonga zaabwe n'abasaba 200,000/- era fayiro n'agifuna ne basasulwa.

Agattako nti, baawanyisiganya ennamba z'essimu era mu 2018 Mwondah yamukubira n'amutegeeza nti waliwo ensonga z'ayagala okumuyitiramu.

Bwe baasisinkana, kigambibwa nti Mwondah yamugamba nga bw'ayagala amuyambeko okunoonya abaazirwanako abaagala okubasasula kyokka ye ensonga n'asooka azigaana olw'obutaba na budde.

Agamba nti, yatuukirira mukwano gwe Micheal Kajoba ow'e Kayunga mu Wakiso n'amuyititamu era Kajoba n'akkiriza okunoonya abantu abo.

Kasule agamba nti, teyasooka kumanya nti Mwondah ayagala kuwandiika baazirwanako ab'empewo wabula oluvannyuma yakitegeera.

Kajoba yafuna abantu abalala basatu; Emmanuel Kafeero Lukaga ow'e Kakiri, Vincent ssuuna ow'e Wakiso ne John William Ssebbaale ow'e Gombe bamuyambeko okuwandiika abantu.

Yagasseeko nti, bwe baamala okuwandiika abantu, Mwondah yaleeta yunifoomu y'amagye n'agyambaza abantu be baali bawandiise nga bw'abakuba obufaananyi ng'akozesa essimu oluvannyuma n'abakolera ebiwandiiko ebiraga nti baaliko mu magye.

Ku mpapula ze twalabyeko, yabateereddeko ebitiibwa by'amagye n'abawa ennamba z'amagye n'abateerako n'emyaka gye baamala mu magye.

Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti, Mwondah n'ekibinja kye babadde baakawandiika abantu ba bulijjo abasoba mu 100 mu Wakiso mwokka n'agamba nti balina amawulire nti ekibinja kibadde kiwandiika mu ggwanga lyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.