TOP

Kasirye Ggwanga akubye loole amasasi

Added 13th August 2019

Kasirye Ggwanga akubye loole amasasi

 Kasirye Ggwanga

Kasirye Ggwanga

MAJ. Gen. Kasirye Ggwanga yayimirizza loole etisse kalitunsi ddereeva waayo n'agaana. Yaggyeeyo emmundu n'akuba emipiira amasasi mu kye yayise olutalo lwe yalangirira ku basaanyawo ebibira. "Leero nkubye loole. Anaddayo okusaagira ku bibira byaffe nja kumukuba ku nnyama", bwe yategeezezza mu bukambwe nga tasalikako musale.

Eggulo yayogedde ne Bukedde n'awera: Nze ndi munnamagye omutendeke, eyasoma era alwanirira ebibira obutasaanawo. Ndi taata w'abantu b'e Mityana n'e Mubende. Nja kukuba ku nnyama abasajja abagoba abantu baffe mu bibira ne babiteekamu abantu baabwe okussaanyaawo.

"Nga nkyalina emmundu yange sijja kukkiriza bantu bataazaalibwa Mubende na Mityana kutema bibira byaffe ne basimbamu kalittunsi ne payini ate emiti nagyo ne bagitunda nga mito. "Oyinza okukikkiriza nti abaasaanyawo ebibira baasooka kubigobamu bantu baffe abanaku abanoonya ekyokulya.

Olwo abagwira ne bava eyo ne beeguza buli yiika 35,000/- zokka. Baatema emiti gyaffe emiwangaazi ate mu kifo ky'okukola ebitugasa ne basimbawo kalittunsi. Buli eyasimba emiti eby'okugitema abyerabire.

Mugireke gibeerewo kubanga mwasangawo emiti ne mugitema," bwe yagambye mu busungu. Yabadde ayogera ku byabaddewo ku Lwomukaaga bwe yakubye amasasi loole eyabadde etisse emiti gya kalittunsi e Kajogi mu Ggombolola y'e Maanyi e Mityana. Ggwanga amaze wiiki bbiri ng'agumbye mu bibira mu ggombolola y'e Maanyi gy'alina amaka ge yatuuma ‘Camp Davis'. Abadde aliimisa abantu abaaweebwa liizi ku ttaka ly'ebibira ne batandika okusala emiti nga bwe bagitunda e Kampala.

Abadde avuga emmotoka okuli ekizindaalo ng'alabula abantu obutaddamu kusaalimbirira mu bibira by'e Busujju n'okutemayo omuti kagubeere luti lwa kwokya nnyama. Agamba nti ebibira byali bya Gavumenti ne bagobayo abantu bonna abaali beesenzaayo. Kyokka bwe baavaayo, ettaka baaliguza bantu ku liizi abeefunyiridde okusanyaawo obutonde bw'ensi.

Yagambye nti abagagga abaagula ebibira balina ettima kubanga baatema emiti gyonna emiwangaazi ne bagitunda. Baasimbawo kalittunsi ne payini n'emirala egikaza ettaka ne kye yayise okutaataaganya obutonde bw'ensi kubanga banoonya ssente.Ettaka lino liri mu ggombolola ey'e Maanyi ne Banadda awali ebibira Kassa ne Bulonda ab'ekitongole ky'ebibira mwe baagoba abantu.

ENGERI GYE YAKUBYE LOOLE

Ku Lwomukaaga, loole Isuzu UAW 232K ‘Box Body' yagenze n'etikka emiti. Mu kiseera kino, Kasirye Ggwanga yabadde walako kyokka ne wabaawo abamubuulira nti waliwo abatisse emiti era bafulumye ekibira bagitwala Kampala. Yavuze emmotoka ye ku misinde n'asanga loole e Kajogi mu ggombolola y'e Maanyi. Omu ku batuuze abaabaddewo ayitibwa Sam Mukiga yagambye nti, ku loole waggulu kwabaddeko abavubuka abaabadde bagenda baleekaana n'okuwemula.

Mukiga agamba nti Ggwanga yavuze mmotoka ye n'abayitako n'abayimiriza kyokka ne bagaana. Yavuze n'addamu okubayitako n'abakiika emmotoka mu maaso. Loole bwe yayimiridde, Ggwanga n'afuluma emmotoka ye n'emmundu ya AK47 n'akuba mmotoka ebyasi mu mipiira. Abavubuka abaabadde baleekaana ne ddereeva baavudde ku loole na beeyokya ensiko.

NTEREEZA BUTONDEBWANSI - KASIRYE GGWANGA Ggwanga yategeezezza Bukedde nti abo abazannya bakimanye nti ebitundu by'eggwanga ebisinga mu kiseera kino enzizi zaakalira lwa kutema bibira kati amazzi abaana n'abakyala bagakima ku nnyanja ekintu ekikaluubiriza obulamu bwabwe.

"Ndayira aga Katonda mu Ggulu siyinza kukkiriza bantu kuva eyo kusaanyawo bibira byaffe ne ntunula butunuzi. Bannaffe abo mbalabula okukimanya nti eno Buganda tebalina kugifuula kizannyiro", bwe yalabudde. N'agattako: ayagala agende ampawaabire mu mbuga. Ku 35,000/- ze bagula buli yiika kwe batemera emiti gyaffe egibaddewo emyaka 50 n'okusoba? Bwe batemawo emiti gy'obuwangaazi ne basimbamu kalittunsi ayonoona ettaka? Abakozi abakola mu kalittunsi nabo bajja nabo.

Olwo abaana baffe bakolewa? Amakubo nago baleeta biroole ne bigonoona, ffe ne tusigala nga tetulina kye tufunyeemu.Yagasseeko nti: ayagala okumanya bwe nfaanana ajje ewange e Nkene gye nkubye enkambi e Mityana, ajja kukakasa Kasirye Ggwanga y'ani. Mukomye ejjoogo.

Omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire yagambye nti, Ggwanga yawummula amagye nga July 4, 2018. Bw'azza omusango kati poliisi y'evunaanyizibwa okumukangavvula. Polisi y'e Mityana yagaanyi okuyingira mu nsonga zino. Loole eyakubiddwa emipiira yasuzeewo n'esiibawo ku Ssande kyokka ekiro bannyiniyo baataddeko emipiira ne bagitwala ne kalittunsi.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Wamala, Norbert Ochom yagambye nti, nnanyini mmotoka teyaloopye musango gwonna ku poliisi. Yagambye nti poliisi y'e Maanyi eri kumpi nnyo n'ekifo Ggwanga we yakubidde loole amasasi.Teyawaabye ate ne bannannyini mmotoka nabo tebaatutte nsonga zino ku poliisi.

Atwala ebyokwerinda e Kajogi, Martin Kalegga yagambye nti byonna ebyabaddewo byamubuuliddwa batuuze tewali yagenze ku LC kugiroopera.Akulira ebyebibira e Mityana, Moses Kirya yagambye nti nabo baabadde baakamanya bagenda kunoonyereza. Bino we bijjidde nga Ggwanga mu January 2019, yakuba amasasi emipiira gy'emmotoka y'omuyimbi Catherine Kusasira.

Mmotoka ye yali esimbye okumpi ne Makindye Guest House. Okumpi awo waaliwo abaana ba Ggwanga abaali bagula ebintu. Abayambi ba Kusasira baali batumbudde omuziki ogwali gusaanikidde ekyalo. Kigambibwa nti abaana ba Ggwanga baasaba abaali mu mmotoka bakendeeze ku myuziki ne beerema.

Abaana baakubira kitaabwe essimu n'ajja n'alagira abaali mu mmotoka okukendeeza ku bidongo ne bagaana. Kwe kusaba omukuumi we emmundu n'akuba emmotoka emipiira n'avuga n'agenda.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti, Kusasira yagaana okukola sitatimenti olwo poliisi n'ebivaako kubanga tebayinza kuyita Ggwanga kukola sitatimenti nga tewali amuvunaana. Yagaseeko nti fayiro ekyali nzigule

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebya Ssegirinya obutava mu ...

OBUTAKWATAGANA bwa balooya ba Muhammad Ssegirinya obwamulemesezza okuva mu kkomera e Kitalya abamu babutapuse ng'akakodyo...

Abasiraamu e Mityana bafuny...

Abakulembeze b’Obusiraamu mu disitulikiti y’e Mityana bali mu ssanyu oluvannyuma lw’okukwasibwa mmotoka Kapyata...

Aba URA baagala kapyata ya ...

WABADDEWO enkalu ku mmotoka ya Bobi Wine Toyota Land Cruiser UBJ 667F etayitamu masasi ku ngeri gy’erina okukeberebwa...

Omutendesi wa City Oilers y...

OMUTENDESI wa City Oilers mu liigi enkulu eya Basketball Mandy Juruni afunye okwekanga ttiimu ye bw’ekubiddwa KIU...

Abasiraamu basabye Gav't ok...

EKITEBE ky'Obusiraamu mu Ggwanga okwongera okwetegereza ensonga ya kafiyu ekiyinza okutataaganya Abasiraamu okusaala...