TOP

Luggya Lwasi bamuziise mu kitiibwa

Added 14th August 2019

Luggya Lwasi bamuziise mu kitiibwa

 Bannaddiini n’abakungubazi abeetabye mu kuziika Luggya Lwasi.

Bannaddiini n’abakungubazi abeetabye mu kuziika Luggya Lwasi.

Omugenzi Ezekiel Luggya Lwasi Bapere aziikiddwa mu kitiibwa e Nakaseeta, Mpigi ng'abalabirizi na bakungubazi batendereza omukululo gw'alese mu ggwanga ku myaka 75. Luggya Lwasi yafiira mu ddwaaliro e Mengo oluvannyuma lw'okulumizibwa mu lubuto.

Abakungu okuva mu Gavumenti eyaawakati nabo beetabye mu kuziika Gen. Katumba Wamala ye yakiikiridde Pulezidenti, Meeya w'e Lubaga Nabbosa Ssebugwawo, Katikkiro w'ekika ky'e Ndiga Edward Ssemukuutu n'omubaka wa Katikamu North Ying. Abraham Byandaala.

Abalabirizi abaasiimye omugenzi olw'emirimu gy'akoledde ekkanisa kwabaddeko Eria Paul Luzinda owe Mukono eyawummula, George William Ssenabulya owa Central Buganda eyawummula, Eridaadi Nsubuga owe Luweero ne Evans Mukasa Kisekka naye eyawummula.

Pulezidenti Museveni mu bubaka bwe yayisizza mu Gen. Katumba Wamala yasiimye emirimu omugenzi gy'akoledde ekkanisa okusingira ddala ku kiggwa ky'abajulizi e Namugongo.

Gen. Katumba Wamala yategeezza nti Pulezidenti yasiimye obwesigwa omugenzi bw'abadde alina ng'abadde akwata bulungi ssente z'okuzimba Namugongo era n'asuubiza okwongera okuwaayo ssente ku mirimu gy'Ekkanisa Yayanjudde obukadde 10, Pulezidenti bwe yawaddeyo ng'amabugo.

Ssaabalabirizi wa Uganda, Stanely Ntangali yasinzidde Nigeria n'aweereza obubaka bwe yayisizza mu Jackson Matovu n'asiima emirimu omugenzi gy'akoledde eggwanga ne kkanisa n'asaba abantu okumutwala ng'ekyokulabirako.

Omulabirizi Eridard Nsubuga eyakulembedde okubuulira yagambye nti omugenzi abadde mweruufu, mwesigwa, omuteefu ate era omuwi w'amagezi n'amwebaza okuzimba ekkanisa e Mpigi. Omulabirizi George William Ssenabulya Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula yasiimye emirimu Omugenzi gyakoledde ekkanisa nategeeza nti abadde akola ng'atawummula emisana n'ekiro okutuusa okufa.

Yeebazizza Ruth Nkoyooyo nnamwandu w'omugenzi Dr. Livingstone Nkoyooyo eyamugatta ku mugenzi era nga babadde bakolagana okuviira ddala nga batandika okuzimba Church House.Yakuutidde abantu obutakozesa mikono gyabwe kutta bannaabwe.

Omulabirizi Evans Mukasa Kisseka yagambye nti bafiiriddwa omuntu abadde amanyi obunafu bwabwe ng'akoleredde Obulabirizi bw'e Luweero. Omulabirizi Jackson Matovu, ssentebe ku kakiiko akazimba Namugongo yategeezezza nti omugenzi abadde mugezi ng'abadde amanyi bwino yenna akwata ku Namugongo. Rev. William Mirimu Omusumba w'ekkanisa y'e Mpigi - Nakaseeta yalaze obweraliikirivu n'agamba nti omugenzi yabadde azimba ekkanisa yaabwe n'asaba abantu okubakwattizaako basobole okugimaliriza.

Isreal Mayengo omukulembeze mu kibiina kya ‘Prostate Gland Intiative Uganda' ekiyamba okubunyisa amawulire agakwata ku kansa wa basajja n'okunoonya obuyambi eri abalina obulwadde buno ekyatandikibwawo omugenzi yategeezezza nti omugenzi abadde alumirirwa buli muntu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...