TOP

Mukole ebibiina by'obwegassi'

Added 14th August 2019

‘Mukole ebibiina by’obwegassi’

OMUBAKA akiikirira Munisipaali y'e Nansana mu Palamenti Hon. Kasule Ssebunnya, awabudde abakozi nti okwekolamu ebibiina by'obwegassi kye kijja okutambuza bizinensi zaabwe.

Bino yabyogeredde ku mukolo nga abayizi bakwasibwa ebbaluwa ezibakakasa okumaliriza omusomo ogw'emyezi esatu ogwababangudde mu nzirukanya y'emirimu, kwe yabadde omugenyi omukulu nga ye yakiikiridde Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga.

Abakozi abawerera ddala 548 be baasindikibwa kampuni ez'enjawulo eziwera 148 mu musomo guno. Omukolo gwabadde ku ttendekero lya Stanbic Business Incubator e Kololo ku nkomerero ya wiiki ewedde.

Yabakuutidde bulijjo okukolera awamu nga tebeerabidde nti agali awamu ge galuma ennyama. Guno mulundi gwakusatu ng'omusomo guno gutegekebwa.Ssebunnya yeebazizza abategesi b'omusomo guno aba Stanbic Bank olw'okulengerera ewala ne bategekera abaana omusomo ogubafuula ab'enjawulo Yagambye nti eno y'engeri yokka esobola okuzza abakozi obuggya ne babanguka mu nzirukanya ya bizineesi zaabwe.

Bwe yabadde ayogera eri abayizi abaakwasiddwa ebbaluwa akulira ebyokwekulaakulanya mu bbanka eno Tony Otoa, yagambye nti abayizi abaatikkiddwa bakyuse kinene mu nzirukanya y'emirimu olw'obukugu bwe bafunye. Mu bye baabanguddwa mulimu enkola y'endagaano mu bizinensi, enkwata ya bakasitooma, okutangira n'okwanguyira ebisuula bizinensi, enkuuma y'ebitabo n'ebintu ebirala ebikuuma bizineesi okutambula obulungi nga tezigudde.

Ku mukolo gwe gumu, Stanbic Bank yafunye okuvujjirirwa kwa ssente eziwerera ddala obukadde 400 okuva mu kitongole kya GIZ Employment and Skills for Eastern Africa programme. Patrick Mweheire, akulira bbanka eno yagambye nti zaakubasobozesa okusenvula n'okusembeza empeereza eno mu bitundu by'eggwanga ebirala gye bateeka teeka okussa amatabi aganaabangula abantu mu bitundu ebyo.

Ye Ernest Rubondo akulira ekitongole kya Petroleum Authority of Uganda yasiimye enkola eno era n'akakasa nga bw'egenda okubangula abakozi era ekendeeze eky'okuleetanga abagwira okuggussa emirimu egitali gimu buli lwe wabeerawo obwetaavu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spoon X Lounge bataddewo amaduuka

Corona anyize ab'ebbaala ne...

Eyo y'embeera ekirwadde kya corona we kituusizza bannannyini bifo ebisanyukirwamu naddala ebbaala. Oluvannyuma...

Omukazi yabuuka n'eyavaako ...

ABAKAZI abasinga tebalina bugumiikiriza! Maama w’abaana bange bwe bansiba mu kkomera e Luzira nagenda okuvaayo...

Pogba owa ManU (ku kkono) ne Zaha owa Palace baddamu leero okusisinkana.

ManU tetidde Crystal Palace

LEERO (lwamukaaga) zaakudda okunywa batabani ba Ole Gunnar Solskjaer (aba ManU) bwe banaaba balwana okukakasa ensi...

Bashir Mutanda

Mbarara etutte Bashir Mutanda

MBARARA City FC eraze amaanyi bw’esitukidde mu abadde omuteebi wa SC Villa, Bashir Mutanda n’assa omukono ku ndagaano...

Kizza (ku ddyo) ng’akwasa Mayeku omujoozi gwa URA.

Tukooye ennyonta y'ebikopo ...

SSENTEBE wa URA FC, James Kizza agambye nti ennyonta y’ebikopo ebasusseeko nga sizoni eno baagala basitukire mu...