TOP

Okuwamba abasaabaze kuzzeemu e Masaka

Added 14th August 2019

Okuwamba abasaabaze kuzzeemu e Masaka

MU bbanga lya myezi mukaaga, abantu musanvu be baakagwa mu katego k'abatemu abeefuula abakola ogw'okusaabaza abantu mu mmotoka ezaabuyonjo mu bitundu by'e Masaka era abantu bana be banyazeeko ssente n'oluvannyuma ne battibwa ate abalala ne basimattuka. Akyasembyeyo okubagwamu ye Fred Tukahirwe ku Lwomukaaga.

Tuhakirwe emmotoka ekika kya Noah yamulondodde okuva e Katwe - Masaka gy'abadde asula, yamulonze mu kabuga k'e Kijjabwemi omulambo gwe ne gusuulibwa ku luguudo lw'e Viilla.

Shafic Mwanje ng'ono yasimattuka okuttibwa abasajja abaamujja ku siteegi ya Shell Buddu mu kibuga Masaka ng'agenda Kyotera, yategeezezza nti balina abantu bangi be bakolagana nabo ekibasobozesa okulondoola abantu ababa ne ssente.

Yayongeddeko nti oluvannyuma lw'okumwefuulira ne bamusiba omuguwa mu bulago baamusaba ssente era ze yalina n'azibawa ne bamulagira akubire omuntu yenna abaweereze obukadde 10 singa yali akayayagala obulamu, yabategeeza nga bw'atalina ssente ezo ne bamujjirayo ebiso n'ennyondo kyokka oluvannyuma ne bamusuula mu kitoogo ky'e Nabajuzi ku ludda e Kyotera.

Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka Paul Kangavve yalabudde abaatadde obupande ku mmotoka mu kifo ky'ebikuubo nti nabo tebajja kutalizibwa kubanga obupande buno busobola okuggyibwako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...