TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyadda mu kifo kya Zari ewa Diamond Platnumz asulirira kuzaala

Eyadda mu kifo kya Zari ewa Diamond Platnumz asulirira kuzaala

Added 15th August 2019

MWANAMUWALA eyadda mu kifo kya Zari Hassan nga kati ono y’afumba ew’omuyimbi w’e Tanzania Diamond Platnumz, ennaku azibalira ku ngalo asindike omwana.

MWANAMUWALA eyadda
mu kifo kya Zari Hassan
nga kati ono y'afumba
ew'omuyimbi w'e Tanzania
Diamond Platnumz,
ennaku azibalira ku
ngalo asindike omwana.
Omanyi Zari yeekyawa
n'ayabulira Diamond
Platnumz ng'agamba
nti asusse okumuteekako
baggya be.
Entikko y'omukwano
gwabwe okusasika
kyava ku Diamond
okuzaala mu muwala
eyalabikira mu vidiyo
ye ayitibwa Hamisa Mobeto.
Oluvannyuma lwa Zari okusibamu
ebibye Diamond yayingizaawo
Tanasha Donna
nga nzaalwa y'e Kenya eyali
akola ku leediyo emu mu
Kenya. Gye buvuddeko
yamukoledde akabaga
k'amazaalibwa wabulawabadde
tewannayita na
mwezi ate baamukoledde
ak'okwetegekera okuzaala
nga yasoose
kwekubya bifaananyi ng'alaga olubuto
lwe we lutuuse n'ateerako obubaka
nga yeebaza Diamond Platnumz
ne Katonda okumubeererawo. Kati
Diamond yeesunga kubuusa bbebi.
Bino we bijjidde nga ne Zari agamba
nti akyali mbooko era akyayagala okuzaalayo
abaana abalala 5 okwongera
ku bataano b'alina

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu