
Talemwa
Jackson Talemwa eyeeyita Cool Dee eyayimba oluyimba oluwabula Paasita Bugingo okukomya okujolonga abakyala, alaajanidde poliisi emuyambe ku bamutiisatiisa .
Ono agamba nti baakamusuulira ebibaluwa bikirokitwalamunaku bibiri awaka we nga biwandiikiddwaako nti, ‘'ekyakuvumisa omusumba waffe ojja kukinnyonnyoka''.
Ayongerako nti olulala yali ava mu bbaala emu e Bweyogerere, abavubuka musanvu ne bamutaayiza ne bamugamba ekintu kye kimu .
Ono yagguddewo omusango ku poliisi y'e Namugongo ku SD/REF 34/09/8/19 wabula agamba nti wadde waliwo okutiisibwatiisibwa ye tajja kuva ku mulamwa gwa kuwabula bantu kuba teyali musanyufu na ngeri Paasita Bugingo gye yajolongamu ekitiibwa ky'abakyala.
Oluyimba lwe luno luvumirira Bugingo olw'okuvvoola ekitiibwa ky'abakyala bannakazadde b'eggwanga abakuza buli muntu n'okwanika obuziina bwa maama w'abaana gw'abadde naye ebbanga eddene .
Era lwoleka obutali bumativu eri omusumba gw'agamba nti yandibadde kyakulabirako ng'abuulirira n'okukuuma ebyama bye.
Oluyimba era lukowoola n'abakyala abakulu mu ggwanga okuli Sipiika, Nnaabagereka, Mukyala Janet Museveni n'abalala okuvaayo okulwanirira eddembe ly'abakyala kuba nabo kibatwaliramu. Ono era alaga Bugingo, omusumba omutuufu bw'alina okweyisa ne bw'aba asazeewo okwawukana ne mukyala we .Ono ye era ye yayimba n'oluyimba lwa Abiriga ng'avumirira abaamutta.