
Kansala Ddamba (mu ssuuti) n'abakulembeze abalala nga balambula emyala mu Wankulukuku
Bya VIVIEN NAKITENDE
Abakulembeze b'ebyalo mu Lubaga balaajanidde KCCA ku butonde bw'ensi obwonoonebwa olw'abaggagga abazimba mu myala n'entobazzi. Beekokkodde bamusigansimbi abeefuula abaleese enkulaakulana, ne baleka nga boonoonye ebitundu byabwe.
Baabadde mu lukiiko olwayitiddwa kansala Ismail Ddamba Kisuze owa Lubaga III mu KCCA, okwogera ku butonde bw'ensi n'obuyonjo bw'ebitundu byabwe.
Lwatudde oluvannyuma lw'omugagga Kalungi alina ekkolero ly'obuveera mu zooni ya Ssembule ‘B' e Kabowa, eyabadde azimbye ekikomera mu mwala gwa Nalukolongo Channel, wabula abatuuze ne bakimenya nga bagamba nti, kigenda kubakosa ssinga kiziba omwala.

Balambudde ebifo eby'enjawulo omuli emyala n'entobazzi ebyonooneddwa, nga bino bagamba bye bivuddeko amataba okweyongera mu bitundu by'e Lubaga eby'enjawulo, nga waaliwo ebitundu ebimu abagagga abaazimba ne bakyusa amakubo g'emyala ate entobazzi nazo ne bazizimbamu nga kati amazzi tegakyalina we gayiwa.
Wano bassentebe we baasinzidde ne basaba Gavumenti ebongere obuyinza, nga tewali muntu yenna akkiriza kuzimba mu kitundu ng'olukiiko lw'ekyalo terukkiriza oba ddala w'agenda okuzimba wagwanidde.

Edmikes Tagoya, Ssentebe wa zooni ya Ssembule ‘B' agamba nti, ebifo eby'enkizo ng'emyala n'entobazzi bingi bizimbiddwamu lwakuba abazimbamu bajja n'ebiragiro okuva waggulu, nga bassentebe ne bwe babagambako tebabawuliriza kubanga tebalina buyinza.
Kansala Ddamba, agambye nti akizudde nga bamusigansimbi be basinze okwonoona obutonde bw'ensi mu kitundu, nga bajja ne bagula ebyalo ne basasula abantu abaliwo, ne bakolerawo bye baagala omuli abayiwa ettaka emyala gye basanze mu kifo ekyo gyonna ne bagiziba ekikosezza abantu.

N'agamba nti, basazeewo omuntu yenna okujja mu kitundu okuzimba alina okuba ng'alina pulaani okuva mu KCCA oba olukusa lwa NEMA, okumuyisa mu kasengejja k'ekyalo, bwe balaba nga waliwo ebyetaaga okukyusibwa, alina okubituukiriza era tajja kukkirizibwanga kwonoona bitundu, abatuuze kye baawagidde.