
Abalambuzi nga bali ku kayanja akali ku ntikko y’olusozi Kagulu. Ku ddyo, Olusozi Kagulu nga bwerufanana.
Ssentebe wa LC5 e Buyende, Robert Ziribasanga, yategeezezza Bukedde nti kyakakasiddwa nti Pulezidenti Museveni y‘ajja okusimbula empaka zino, oluvannyuma agabire abawanguzi ebirabo omuli pikipiki, amabaati, ssente enkalu, n'ebirala.
Enkumi n'enkumi z'abalambuzi aba kuno n'Abazungu be bagenda okwetaba mu mpaka zino ku Lwomukaaga nga August 17, 2019.
Okulambula kuno Museveni yakutongoza mu 2012 , mu kaweefube w'okusoosowaza ebyobulambuzi, ebyobuwangwa, okukuuma obutonde bw'ensi , n'okugatta abantu.
Olusozi luno olwa ffuuti 3,848 lusangibwa mu ggombolola y‘e Kagulu mu disitulikiti y‘e Buyende, ng'okufuulibwa ekyobulambuzi kyava ku ndabika yaalwo okuli agayinja agaalwerippako erudda n'erudda, ng'ate luliko ebyafaayo n'ebyobuwangwa bw'Abasoga.
Ku ntikko eriyo ekidiba ekirimu akaato akaseeyeeya, akagambibwa okuba aka Jjajja wa Busoga, Mukama Namutukula.
Kiwanuuzibwa nti yava e Bunyoro, eyo nga mu myaka gya 1700 n'agobera ku mwalo gw'e Iingo mu ggombolola y'e Kagulu, n'azaala abaana 11 be yagabanyaamu amasaza 11 agakola Obwakyabazinga bwa Busoga.
Ng'oli ku ntikko, ennyanja Kyoga esemberera ddala, olaba ebyalo ebyetoolodde ebisoba
mu 600, ng'ate kuliko n'empuku gaggadde, abatuuze mwe battira empisi ezisoba mu 250 nga baziranga okubaliiranga ebisolo byabwe.
SIPIIKA KADAGA AKUNZE ABANTU BAJJE MU BUNGI
Ng'ali ku Century Hotels mu kibuga Kamuli, Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga, yagambye nti okulambula kwa luno kulimu ebinnonoggo okuli okwoleka abawala ababalagavu ab'ebyobulambuzi (Miss Tourism) okuva mu Masaza 11 ag'e Busoga.
"Abadde Nnalulungi wa Uganda/Africa, Omusoga Quin Abenakyo naye ajja kubaayo, era gunaaba gwakubiri ng'alinnya olusozi luno kuba gye buvuddeko yaleeta Nnalulungi w'ensi yonna, Vanessa Ponce ku Lusozi luno," Kadaga bwe yagambye.
Omubaka wa Buyende omukazi, Veronica Babirye Kadogo, yagambye nti n'abatuuze bajja kufunamu kuba bajja kutunda ebintu okuli emmere, ebyemikono n'amajolobera ag'enjawulo.
Omubaka Babirye agambye nti wajja kubaawo n'okwolesa obuwangwa bwa Busoga okutandikira ku Basamize abayitibwa Abaswezi, embugo ez'ekisoga, ebibya, amafumu, ensuwa ez'emimwa 2-4, amazina g'ekiswezi, Amasoga n'ebirala.