TOP

NSSF egumizza abakozi ku ssente

Added 16th August 2019

EKITONGOLE ekiterekera abakozi ensimbi zaabwe ez'obukadde, ekya NSSF, kinnyonnyodde ku ngeri ennongoosereza mu tteeka ezaayanjuddwa mu Palamenti gye zigenda okuyamba omukozi.

Ennongoosereza zino zikirambika nti kigenda kubeera kya buwaze omukozesa yenna okusasulira omukozi we ssente z'alina okutereka bw'alemwa ekibonerezo bakyongedde okukikalubya.

Etteeka eririwo kirambika nti omukozi aggyibwako ebitundu 5 ku 100 ku musaala gwe olwo omukozesa n'amwongerezaako ebitundu 10 ku 100 n'azimuterekera mu NSSF.

Kyokka ssente ezo zibadde ziggyibwako omusolo naye mu nnongoosereza ereeteddwa tebaggya kuziggyako musolo.

Akulira NSSF, Richard Byarugaba ng'ali n'omukungu wa Gavunenti Martin Wandera mu nsisinkano n'abaamawulire eyabadde ku Serena Hotel mwe bannyonnyoledde bino.

Kyokka Byarugaba yannyonnyidde nti etteeka ekkadde libadde terikkiriza NSSF kuwola muntu oba ekitongole ku ssente z'abakozi kyokka ennongoosereza zikkiriza Gavumenti okuzeewola ng'egoberera amateeka.

Ebitundu 10 ku 100 omukozesa z'aterekerayo omukozi zibadde teziggyibwako musolo naye mu nnongoosereza tekirambuluddwa oba zinaggyibwako era wano Byarugaba yategeezezza nti baakugenda mu Palamenti bakittaanye.

Ennongoosereza zirambika nti, omuntu alina ssente mu NSSF asobola okuziggyayo ku myaka 55 kyokka ku myaka gino amagoba ge zikoze gaggyibwako omusolo naye singa agumiikiriza n'aziggyayo ku myaka 60 abeera tagenda kuggyibwako musolo so ng'amagoba ne ssente z'aterekayo zibeera zeeyongeddeko obungi.

Omukozi kimukakatako okusalibwako ebitundu 5 ku 100 ku musaala gwe kyokka mu nnongoosereza ezikolebwa ajja kubeeranga wa ddembe okusalawo okweterekerayo ssente endala mu ngeri ya kyeyagalire.

Wano Byarugaba weyasinzidde n'ategeeza nti okunoonyereza kulaga nti Bannayuganda ebitundu 93 ku 100 batuuka okuwummula nga tebawezaayo bukadde 50 mu NSSF newankubadde ng'abasinga abeera aterese okumala emyaka 25 .

Kkyokka akasente ke bafuna okuva mu NSSF bakakozesa mu bbanga lya mwaka gumu nga tebakyalinawo wadde omunwe gw'ennusu ate nga tebalina kintu kye bazikozeemu ekizza amagoba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...