TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssentebe Kalangwa awaddeyo omutayimbwa, omulabirizi  Kajoba n'asaba bannabyabufuzi okuba abaamazima

Ssentebe Kalangwa awaddeyo omutayimbwa, omulabirizi  Kajoba n'asaba bannabyabufuzi okuba abaamazima

Added 18th August 2019

Omulabirizi Kajoba agambye nti omukulembeze atatya Katonda tasobola kussa kitiibwa mu bantu b'akulembera era obudde bwonna abeera mu kubalimbalimba mu kifo ky'okubakolera ebibakulaakulanya.

 Omulabirizi Kajoba (owookubiri ku kkono) n'Abadiventi abaawerekedde ku ssentebe Karangwa (owookusatu ku kkono) okuva e Kayunga.

Omulabirizi Kajoba (owookubiri ku kkono) n'Abadiventi abaawerekedde ku ssentebe Karangwa (owookusatu ku kkono) okuva e Kayunga.

 

Bya SAUL WOKULIRA

OMULABIRIZI  wa Central Uganda Conference mu kkanisa y'Abadiventi, Samuel Kajoba asoomoozezza abakulembeze b'ebyobufuzi okubeera ab'amazima eri abantu be bakulembera wamu n'okutya Katonda.

Omulabirizi Kajoba agambye nti omukulembeze atatya Katonda tasobola kussa kitiibwa mu bantu b'akulembera era obudde bwonna abeera mu kubalimbalimba mu kifo ky'okubakolera ebibakulaakulanya.

Omulabirizi Kajoba bino yabyogeredde ku kitebe ky'Abadiventi e Kireka bwe yabadde asisinkanye ssentebe wa NRM e Kayunga, Moses Karangwa Kaliisa ng'awaayo ensawo za seminti 100 okudduukirira omulimu gw'okuzimba eddwaaliro.

Karangwa yawerekeddwako Abadiventi okuva e Kayunga wamu ne Jacqueline Birungi agenda okwesimbawo ku kifo ky'omubaka omukazi owa Kayunga mu palamenti.

Omulabirizi Kajoba yasiimye ssentebe Karangwa olw'omutima omugabi gw'alina n'asaba bannabyabufuzi abalala bamulabireko.

Ssentebe Karangwa yasiimye Abadiventi olw'eddwaaliro galikwoleka lye bazimba era ne yeeyama okwongera olw'okuzimba eddwaaliro lino.

Abadiventi banoonya ssente mu nteekateeka gye baatuuma 'Omutayimbwa' okusobola okuzimba eddwaaliro eriri ku mutindo ogw'ensi yonna.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...