TOP

Gwe baakwata mu kabinja ka Mulo

Added 18th August 2019

Gwe baakwata mu kabinja ka Mulo

 Gitta ne banne lwe baakwatibwa.

Gitta ne banne lwe baakwatibwa.

OMU ku bavubuka b'omu kabinja ka Yanga Mulo abatemula aba bodaboda ayimbuddwa n'awera okukola ku akulira poliisi ya Kironde zooni mu Ndeeba olw'okubasibisa. Shariff Gitta yakwatibwa ne banne abalala babiri okuli; Shafiq Matovu ne Adam Namudaala nga baggyibwa mu Ndeeba we baalina ekibanda ekiraga ffirimu, Yanga Mulo ne munne Mugisha we baabeeranga n'okupanga ddiiru z'okubba n'okutta aba bodaboda.

Mugisha munne wa Yanga Mulo okumukwata yaggyibwa ku kibanda kino ekigambibwa nti kya Namudaala, era bwe yatwalibwa ku poliisi gye yayogerera nti akolagana n'omuvubuka gwe baakazaako erya Yanga Mulo, oluvannyuma naye yakwatibwa.

Omuvubuka ayitibwa Robert Ndiika ye yatemya ku poliisi nga Yanga Mulo ne Mugisha bwe babeera ku kibanda kino era Mugisha bwe yalabikako mu kifo ekyo, Ndiika yategeeza mangu poliisi eyajja n'emukwata.

Ku Lwokusatu lwa wiiki eno, Namudaala ne banne okuli Matovu ne Gitta baasimbiddwa mu kkooti e Makindye, ababiri ku bo okuli; Matovu ne Namudaala omulamuzi n'abasindika e Luzira.

Ndiika agamba nti ekyamwewuunyisizza, y'engeri Gitta gye yayimbuddwa ku kakalu ka kkooti nga n'omusango gwe baamuggulako gwa kusangibwa na biragalalagala ate nga ekyamukwasa gwali musango gwa kubeera mu kabinja ka Yanga Mulo akatta aba bodaboda.

Ndiika agamba nti gye buvuddeko yatuukirirwa abooluganda lw'abasajja bano be baasindise e Luzira nga bamumatiza akkirize bamuwe 5,000,000/- ave ku by'okulumiriza abantu baabwe kyokka n'azigaana. Ndiika alaga nti yagaana okutwala ensimbi zino ng'akimanyi nti oluvannyuma abasajja bano bajja kuvaayo bazimubanje era ekinaava mu kino kya kumutta.

Ndiika agamba nti Gitta bwe yavudde mu kkomera, n'amulumba n'amulaalika okumutta okuggyako ng'akomezza okukolagana ne poliisi n'okubakolako olugambo olwavuddeko okukwata banne. Ndiika yagenze ku poliisi n'aggulawo omusango gw'okumutiisatiisa kumutta ku fayiro nnamba SD:74/14/082019.

OC WA POLIISI AYOGEDDE KU BY'OKUMULUMBA

Atwala poliisi ya Kironde zooni mu Ndeeba, Justus Bwire yagambye nti, Gitta olwamutadde n'amulumba olw'okukulemberamu ekikwekweto mwe baabakwatira ne banne.

Kyokka Bwire yagambye nti tajja kupondooka olw'akabinja kano okumutiisatiisa kubanga ye muserikale, yasalawo okukola omulimu guno ng'amanyi nti oluusi guyinza n'okutwala obulamu bwe.

Yagambye nti abavubuka bano abamanyi ba mutawaana era amaze ekiseera ng'abalwanyisa kubanga babbi era bamaze ebbanga nga batigomya abantu. Bwire yagambye nti, Gitta oluvannyuma lw'okumulumba yatumye n'abantu be yawadde obubaka obumulaalika okumukolako mu kiseera ekitali kye wala okuva kati olw'okubeesimbamu n'atuuka okubasibisa mu kkomera.

Ku kyalo, Gitta yatiisizzatiisizza abantu abalala bangi buli gw'amanyi nti, yeetaba mu kubakwata bonna n'abalabula okubeesasuza. Abatuuze bagamba nti, beewuunyizza engeri omulamuzi gye yatadde Gitta ali ku musango omunene bwegutyo ate gye byaggweeredde ng'avunaanibwa gwa njaga mu kifo ky'okutta aba bodaboda.

Wabula Bukedde bwe yayogeddeko n'aba kkooti y'e Makindye, baategeezezza nti Gitta yabaddeko fayiro ya kusangibwa na njaga era mu kiseera we yaleetereddwa mu kkooti yabadde ali mu mbeera mbi nga omulamuzi yategeezeddwa nti ono agwa n'ensimbu era n'amuta mu mbeera eno.

Kyokka abatuuze bagamba nti Gitta ayogerwako ng'eyabadde omulwadde ennyo, olwavudde mu kkomera yatuukidde mu kitundu n'atandika okutiisatiisa buli omu okuli n'akulira poliisi y'omu kitundu nga bonna awera kubakolako bulabe ate ng'obusobozi obukola kino abulina.

Abatuuze baagambye nti olumu Mugisha munne wa Mulo yategeeza poliisi nti balina omugagga gwe bakolera era bwe baba bakwatiddwa, abaggya ku poliisi ne balaga okutya nti omugagga eyayogerwako ayinza okuba nga y'ali emabega w'ebintu bino n'okuwaga Gitta okutuuka okutiisatiisa n'okukola obulabe ku OC wa poliisi nga talina ky'atya.

Kyokka omumyuka w'omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigire, yagambye nti eby'okuta Gitta poliisi tebimanyi kubanga omuntu ono baamukwata ne banne ne babatwala mu kkooti noolwekyo omulamuzi wa kkooti y'e Makindye y'amanyi lwaki yatadde omuntu ali ku musango omunene

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...