TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannamagye Pulezidenti be yasindika mu poliisi tebayingiranga mu ofiisi

Bannamagye Pulezidenti be yasindika mu poliisi tebayingiranga mu ofiisi

Added 18th August 2019

Bannamagye Pulezidenti be yasindika mu poliisi tebayingiranga mu ofiisi

 Brig. Golooba ku kkono ate ku ddyo ye Brig. Bakasumba ate wansi ye Col. Ddamulira

Brig. Golooba ku kkono ate ku ddyo ye Brig. Bakasumba ate wansi ye Col. Ddamulira

ENNAKU 49 okuva Pulezidenti Museveni lwe yakyusa abajaasi bana n'abaggya mu UPDF n'abasindika mu poliisi okuyambako okutereeza enkola ya poliisi ey'emirimu bakyalemeddwa okutandika okukola.

Ensonga ezikyabalemesezza entuufu zikyatankanibwa, abamu bagamba nti, minisitule y'abakozi ba Gavumenti yeekyasibye endagaano zaabwe kwe balina okukolera emirimu ate abamu bagamba nti waliwo akazito mu poliisi ke baabateekako obutabakkiriza kukola nabo. Abantu abaali mu ofiisi zino, baabalagira okuzaamuka bunnambiro banyinizo abapya baziyingire wabula ne gye buli eno, tebatandikanga mirimu gyabaweebwa.

Abajaasi Museveni be yasindika mu poliisi kuliko; 1 Col. Ddamulira Sserunjogi eyalondebwa okukulira ekitongole ekikessi (Crime Intelligence)

2 Brig. Jack Bakasumba yasindikibwa okukulira abaserikale bonna (Joint Chief of Staff)

3 Brig. Godfrey Golooba okukulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsonga z'abaserikale (Human Resource Development)

4 Col. Jesse Kamunanwire okukulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku nzirukanya y'emirimu mu poliisi (Human Resource Development) era okubalonda baweza omuwendo gwa bajaasi bataano okuli n'amyuka omuduumuzi wa poliisi Maj. Gen. Sabiiti Muzeyi.

Abajaasi bano okuva lwe baalondebwa nga July 1, 2019 tebayingiranga mu ofiisi okutandika okukakkalabya emirimu ate ng'abantu abaali mu ofiisi zino baalagibwa dda okugenda mu bitundu ebirala gye baatumibwa okuli AIGP Haruna Isabirye eyali akulira ekitongole ekitendeka abaserikale nga yasindikibwa mu Amerika, Hajji Moses Balimwoyo eyali akulira ekitongole ekivunaanyzibwa ku bakozi yasindikiddwa okukulira ekitongole kya poliisi y'ensi yonna (Interpol) n'abalala.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga yagambye nti, badayirekita abaasindikibwa mu poliisi okuva mu maggye balina okusooka okufuna endagaano mu minisitule y'abakozi kuba babadde bakolera mu minisitule y'ebyokwerinda nga kati baweereddwa obuvunaanizibwa obulala okuva mu minisitule endala.

"Kituufu badayirekita abaasindikibwa okukulira ebitongole mu poliisi tebannatandika kukola emirimu ng'ekibasibye kwe kuba nti balina okusooka okufuna endagaano okuva mu minisitule y'abakozi ba Gavumenti nga kino kikolebwa ku buli akulira ekitongole mu poliisi", Enanga bwe yategeezezza.

Yagambye nti minisitule y'abakozi ba Gavumenti bw'eneeba emalirizza endagaano zaabwe, baakutandikirawo emirimu mu bitongole gye baatumibwa nga mu kiseera kino ebitongole bino bikyakuumibwa badayirekita ababibaddemu.

Wabula kigambibwa nti poliisi yafunye okusoomoozebwa naddala mu bagigabira obuyambi nga bawakanya okusindika abajaasi mu poliisi okukola emirimu so nga waliwo abatendekebwa okukola emirimu n'okutondawo ebitongole.

Mu kusooka poliisi yalina ebitongole mukaaga okuli ekinoonyereza ku misabo ekyali kitwala n'ebyekikessi, ekivunanizibwa ku bikwekweeto (Operations), ekivunaanyizibwa ku nsonga z'abakozi (Human Resource) ne None Human Reource.

Wabula ekiseera kyatuuka ebitongole bya poliisi ebirala ne bitondebwawo okuli ekikessi ekyayawulwa ku kinoonyereza ku misango, ekirwanyisa obutujju, ekizikiza omuliro, ekikola ku bidduka, Kampala Metropolitan (Kampala n'emirirwano) n'ekikkakkanya obujagalalao (Field Force Unit) ebyakutulwa ku kitongole eky'ebikwekweto.

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bakozi mu poliisi kyakutulwako ekivunaanyizibwa ku kutendeka abaserikale ng'omugenzi Felix Kaweesi ye yasooka okukikulira. Ebirala ebyatonbebwawo kuliko; eky'ebyamateeka, eky'ebyobulamu, n'ekivunaanyizibwa ku bya tekinologiya n'ekivunaanyizibwa ku kutabaganya poliisi n'omuntu waabulijjo n'ekivunaanyizibwa ku kugulira poliisi ebintu.

ENSONGA ZIRI MU MINISITULE - MAGYE Omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yagambye nti, badayirekita abaasindikibwa mu poliisi balina kuyita mu mitendera okutandika okukola.

Yagambye nti, ku ssaawa eno, ensonga eno eri mu minisitule evunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti era essaawa yonna, baakukakasibwa batandike okukola. Bwe yabuuzidwa lwaki amyuka omuduumizi wa poliisi, Maj. Gen. Sabiiti Muzeyi ye yatandikirawo Karemire yagambye nti, emitendera omumyuka w'omuduumizi wa poliisi ne badayirekita gye bayitamu gyawukana n'agamba nti badayirekita tebagenda mu kakiiko ka Palamenti akasunsula ababa balondeddwa nga kakulirwa Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga.

POLIISI YAAKUSALAWO KU NSONGA ENO Enanga yagambye nti, olukiiko olukulembera poliisi lukolera wamu ne Minisitule evunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti okumaliriza ensonga ya badayirekita bano. Yagasseeko nti, mu lutuula lw'olukiiko olukulembera poliisi olw'omwezi guno, ensonga eno egenda kumulungulwa batandike emirimu mu butongole. Enanga yagambye nti, abaali badayirekita b'ebitongole bino olukiiko olukulira poliisi lwabasemba okugira nga bakuuma ofiisi okutuusa bannanyinizo abapya lwe banaaziyingira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...