TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Batabukidde Kato Lubwama okweyita ssentebe wa People Power mu Buganda

Batabukidde Kato Lubwama okweyita ssentebe wa People Power mu Buganda

Added 18th August 2019

Batabukidde Kato Lubwama okweyita ssentebe wa People Power mu Buganda

 Ababaka Kato Lubwama (mu bimyufu) ne Kasibante mu lukuηηaana.

Ababaka Kato Lubwama (mu bimyufu) ne Kasibante mu lukuηηaana.

OMUBAKA wa Lubaga South mu palamenti, Paul Kato Lubwama alangiridde mu lwatu nti ye ssentebe wa People Power mu kitundutundu kya Buganda ng'amyukibwa mubaka munne owa Lubaga North, Moses Kasibante.

Kato Lubwama okwogera bino, yabadde mu lukiiko lwe yakubye e Busega Kibumbiro okwogerako n'abatuuze b'ekitundu n'okubagabira entandikwa nga yasoose kukola bulungi bwansi okwetoloola ekitundu.

Bwe yalinnye akadaala okwogera, yeeyanjudde bw'ati; "Nga nze ssentebe wa People Power mu Buganda ng'enda kwongera okutuuka ku bantu ba wansi okunnyikiza enkola ya Solidality oba y'okubeera obumu". Kyewuunyisizza abantu nga beebuuza nti, nga Bobi Wine yalangirira muntu mulala ku kifo kino!

Yawadde mubaka munne Moses Kasibante, owa Lubaga North akazindaalo ng'ono yasoose kusiima mukamaawe ssentebe wa People Power mu Buganda n'ategeeza nti, kituufu ye mumyuka wa Kato Lubwama ku kifo kya People Power mu Buganda.

Wabula ono bakira ayogerera mu ngero n'agamba nti, mu babaka ba palamenti, waliwo abalinga abakongozzi, abakongojja emmandwa embi, naye nga bambadde embugo ennungi. Kyewuunyisizza bangi, nga beebuuza baani abo.

Yagenze mumaaso n'ategeeza nti Abakulistaayo bagamba nti, ssi buli ayita nti Yesu Yesu nti mulokole, nti kale abantu basaanye okwekenneenya abantu abeefuula abalumirirwa.

Oluvannyuma Kato Lubwama yagabidde abatuuze entandikwa omwabadde pikipiki 4, obugaali bu maanyi ga kifuba 5, ssigiri ezaasusse mu 30, ebikalaayi ebisiika ebyasusse mu 20, ebbinika ezaasusse 20, bulangiti ezaasusse 50 n'abamu ne baweebwa ssente enkalu.

Kato Lubwama yategeezezza nti, erinnya lya People Power ssi lya Bobi Wine, wabula lya Bannayuganda bonna, nti era ye yalitandika nti kale ye ssentebe wa People Power mu Buganda era waakutambula Buganda yonna okubunyisa enjiri eno.

Oluvannyuma waabaluseewo obutakkaanya, abawagizi ba People Power bwe baatandise okujungulula Kato Lubwama by'ayogedde, nga bagamba nti ye tebamumanyi nga ssentebe wa People Power.

Kyatabudde aba Solidarity ne bagwaηηana mu malaka ne bakubagana era poliisi y'e Kibumbiro yayanguye okutaasa embeera abamu ne bakwatibwa.

Wabula omwogezi wa People Power mu ggwanga, Joel Ssennyonyi yategeezezza nti abantu be baalonda okukulira ebifo ebyenjawulo bamanyiddwa naye Kato ne banne tebabalinaako buzibu kuba bawagizi ba People Power

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...

Abayizi baakukola ebibuuzo ...

EKITONGOLE ky'ebigezo mu ggwanga ekya UNEB, si kyakusazaamu lunaku lwa Mmande enkya olw'abakyala mu nsi yonna okuwummula,...

RDC Kalema ng’ali n’omumyuka w’akulira essomero lya Budde UMEA e Butambala.

Amasomero ga gavumenti gafu...

OMUBAKA wa gavumenti mu Butambala akoze ebikwekweto mu masomero ag'enjawulo okufuuza abatagondera mateeka ga corona...

Abatunda ennyama y’enkoko mu kkiro ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa.

Okusuubula enkoko n'ozonger...

OKUSUUBULA enkoko z'ennyama bw'ozongerako omutindo ofunamu ekisingako ku kye wandifunye. Kino kizingiramu okusuubula...

Ku kkono; Gerald Siranda (DP), Jimmy Akena (UPC), Pulezidenti Museveni ssentebe wa NRM (wakati),Nobert Mao (DP) , Kasule Lumumba (NRM) ne Frank Rusa akulira IPOD.

▶️ Museveni akkirizza okuyi...

PULEZIDENTI Museveni alagidde okuyimbula abamu ku basibe 51 abaakwatibwa ku nsonga z'okugezaako okutabangula emirembe...