TOP

Abatuuze b'e Kabowa basabye ku ba LDU

Added 19th August 2019

Abatuuze b'e Kabowa bakaaba lwa bukambwe bwa LDU obususse

Hajji Abas Ssematimba, ssentebe wa zooni ya Ssembule 'A' e Kabowa ng'ayogera mu lukiiko

Hajji Abas Ssematimba, ssentebe wa zooni ya Ssembule 'A' e Kabowa ng'ayogera mu lukiiko

Bya Vivien Nakitende
Abatuuze n'abakulembeze b'omuluka gw'e Kabowa, basabye abakuumaddembe okubataasa ku baserikale b'eggye erikuuma ebyalo erya LDU abayitirizza obukambwe omuli n'okubakuba kibooko n'okubasaba ssente ku mpaka.
Baabadde mu lukiiko lw'omuluka guno olutuula buli mwezi, olwabadde ku ssomero lya Kabowa CU, mwetabiddwaamu bassentebe b'ebyalo 10 ebikola omuluka gw'e Kabowa omuli: Wankulukuku, Ssembule ‘A' ne ‘B', Kironde, Church Zone, St. Anne, Ssimbwa Zone, Ssuuna zone, Sserwadda zone ne Kabowa Central.

Lwetabiddwaamu Vincent Bright atwala poliisi y'e Kabowa, Paul Kato Lubwama omubaka wa Paalamenti owa Lubaga South, Ismail Ddamba Kisuze kansala wa Lubaga III mu KCCA.

 ansala smail damba ngayogera mu lukiiko Kansala Ismail Ddamba ng'ayogera mu lukiiko

 


Bassentebe baaloopedde abakulu bano ebizibu bye basanga omuli: aba LDU abakambwe, ababbi abakyali abangi mu kitundu, poliisi okutta abamenyi b'amateeka nga tebavunaaniddwa, abantu obutaba na kaabuyonjo zimala ekireese obucaafu n'endwadde mu bitundu, kasasiro ayitiridde mu bantu, ebimansulo ebikyegiriisiza mu bbaala ezimu mu kitundu, amazzi g'emidumu amacaafu, n'ebirala.

Basabye poliisi n'abakulembeze, okukomya okubikkirira ababbi kuba kye kimu ku bisibye obumenyi bw'amateeka mu kitindu byabwe.

Isaac Ssewankambo, akulira eby'okwerinda mu muluka gw'e Kabowa, yennyamidde olw'amasomero agata abayizi ekiro ate ne babakeeza mu matulutulu okugenda ku masomero, ekyongedde emize gy'obuliisamaanyi okweyongera mu kitundu.

incent right atwala poliisi ye abowa ngayogerako eri abatuuze be abowa ku byokwerindaVincent Bright, atwala poliisi y'e Kabowa ng'ayogerako eri abatuuze b'e Kabowa ku byokwerinda

 

Tusaba ab'obuyinza bakole ebikwekweto okutangira ensonga eno, kuba abayizi bangi abasobezeddwaako mu makubo ekiro nga badda eka.
Ddamba yasabye abatuuze okumuloopera amasomero gonna agata abayizi ekiro okudda eka, n'ategeeza nti abayizi balina okutandika okusoma ku ssaawa bbiri ez'oku makya ate ne bateebwa ku ssaawa 10 ez'akawungeezi.

Ayogedde ku musolo gw'amayumba n'ategeeza nti, ab'e Lubaga omusolo omukadde gwonna baagubasonyiwa nga kati balina kuwa mupya ogwa 2019, nti wabula nagwo balindeko okutuusa nga August 21 lwe banaasalawo ku nongoosereza gye baagala okukyusaamu.

N'alabula okuggala amasomero aganaasangibwa nga tegalina lukiiko lufuzi oluyambako ku nzirukanya y'amasomero nti era mu wiiki bbiri bagenda kutandika ebikwekweto.

sentebe womuluka gwe abowa issy akanga ngayogera mu lukiiko ku ddyo ye incent right atwala poliisi ye abowa addiriddwa omubaka wa aalamenti owa ubaga outh aul ato ubwamaSsentebe w'omuluka gw'e Kabowa, Cissy Makanga ng'ayogera mu lukiiko, (ku ddyo) ye Vincent Bright atwala poliisi y'e Kabowa addiriddwa omubaka wa Paalamenti owa Lubaga South, Paul Kato Lubwama

 
Oluguudo lwa Ssuuna Road oluludde nga lugulumbya Bannalubaga South emitwe olw'embeera yaalwo embi, lugenda kuyiibwa koolaasi essaawa yonna.


Cissy Makanga, Ssentebe w'omuluka gw'e Kabowa agamba nti, wa kwongera okukolagana obulungi ne poliisi n'abakulembeze okulaba nti ensonga z'ekitundu kye zigonjoolwa. N'asaba abakulembeze mu muluka gwe okwongera okujjumbira enkiiko z'omuluka basobole okutereeza ekitundu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...