TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bobi Wine aluse pulaani okulemesa abamugoba e Kamwokya

Bobi Wine aluse pulaani okulemesa abamugoba e Kamwokya

Added 19th August 2019

Bobi Wine aluse pulaani okulemesa abamugoba e Kamwokya

 Ssenfuka ng’alaga ekimu ku byapa by’e Kamwokya.

Ssenfuka ng’alaga ekimu ku byapa by’e Kamwokya.

DAVID Ssenfuka y'omu ku bali wakati mu nsonga z'okusengula ab'e Kamwokya omuli ne Bobi Wine. Mu kiseera kino agamba nti abeera Dubai mu United Arab Emirates (UAE) era y'omu ku bannannyini kkampuni ya M/S Pearl Hope Investments Ltd mwe baagulira ettaka eririko enkalu.

Agamba nti, ettaka baaligula mu 2003 era agamba nti wadde ettaka lino kati liriko abantu abasukka mu 300, bbo bannannyini ttaka bamanyiiko abantu 7 bokka era abasigadde omuli ne Bobi Wine babatwala nga bakyesenza.

Nga March 11, 2019 Ssenfuka yasaasaanya ebiwandiiko mu bantu abali ku ttaka eryo ng'abawa ennaku 7 baveeko, wabula ne bimulemerera n'asooka addayo e Dubai.

Agamba nti ekitundu ekya yiika 26, baakigula ku Mpanga Walusimbi emitwalo 80 egya ddoola (Obuwumbi nga busatu mu za Uganda ennaku zino) ate ekitundu ekirala ekya yiika ttaano baakigula ku Samuel Kasoma ne balikolera ekyapa mu 2003.

Mu yiika 26, Bobi Wine mw'alina ekizimbe. Mu 2004, Ssenfuka agamba baayagala okusenda abantu abaali ku ttaka wabula abeebyokwerinda ne babalemesa ne babagamba babawe omukisa beegule.

Abantu musanvu bokka be baasobola okwegula abalala nti ne balemererwa. Gladys Nanyonga nti naye yali tannaba kwegula. Ssenfuka, agamba nti musuubuzi wa ngoye e Dubai gy'alina edduuka ne kkampuni ekola obuloosa gye baddukanya nga famire.

Nga tannava mu Uganda, Ssenfuka yali muwozi wa ssente (Mmanelenda) era waliwo abantu abawerako abaali bamwemulugunyaako ku ngeri gye yakolangamu emirimu egyo.

Ssenfuka yamanyibwa nnyo wakati wa 2000 ne 2010 ng'omusuubuzi w'ettaka era yabeeranga mu nkaayana z'ettaka nyingi naddala ery'e Manyangwa eryaliko enkalu ez'amaanyi.

Okugenda e Dubai, yali amaze okufuna akakuubagano ak'amaanyi n'abeebyokwerinda be yali alumiriza nti baamukwata ne bamutulugunya ku nsonga z'ebyettaka. Omu ku bantu b'aludde ng'agugulana nabo ye Maj. Gen. Kahinda Otafi ire nga battunka ku ttaka eriwezaako yiika 486 ku kizinga Nyenda e Kalangala.

Mu September 2007, Ssenfuka yattunka n'eyali RDC w'e Lubaga Fred Bamwine. Kigambibwa nti Bamwine yakwata Ssenfuka n'amulagira okuzza ekyapa kye yali afunye mu makubo agatali malambulukufu. Omukyala nnannyini kyapa nti ye yali atuukiridde Bamwine nga yeemulugunya.

Mu November 2009, Ssenfuka yakwatibwa abeekitongole kya ISO omwali Teddy Seezi Cheeye nga bakolaganira wamu ne Rapid Response Unit (RRU) era bwe yayimbulwa yeemulugunya nti baamutulugunya nga bamubuuza eby'okwenyigira mu butemu n'okusaddaaka omwana bye yali tamanyiiko.

Mu May 2010 Ssenfuka yafuna obuzibu bwe yagezaako okuweereza ssente empitirivu e Dubai ng'aziyisa mu Bbanka y'e Kenya. Kigambibwa nti ssente obukadde bwa ddoola 9 (mu za Uganda obuwumbi 33) zaali ziva mu Bank of Africa, Nairobi, Kenya ng'azisindika mu Abu Dhabi Islamic Bank nga 28, May, 2010. Yategeeza abeebyokwerinda nti ssente zaali za kugula kizimbe e Dubai.

Ayogerwako ng'omugagga ennyo nti era alina ekizimbe ekikye e Dubai wabula engeri gy'afuna ssente ye yennyini y'asinga okugimanya.

EBIKWATA KU YINVESITA: Ulrich Anass Bongo Ngoyi ayogerwako ng'alina oluganda ku Pulezidenti wa Gabon wabula oluganda terulambululwa nnyo.

Ayogerwako ng'omusuubuzi atatera kubeera Gabon era amakanda yagasimba Dubai mu United Arab Emirates Bizinensi asinga kukola za kusuubula Zzaabu (Gold) n'ebyobugagga eby'omu ttaka era asinga kwetoloolera mu DR Congo ne Kenya mu kukola ddiiru ezo.

Mu September 2012 yasimbibwa mu kkooti y'e Nairobi, Kenya mu maaso g'Omulamuzi Lucy Nyambura ne bamuvunaana emisango gy'okufera obukadde bwa ssente za Kenya butaano mu ddiiru ya Zzaabu wabula emisango n'agyegaana.

Mu December 2012, naye yalumiriza abasuubuzi e Nairobi be yali akolagana nabo nti beekobaana ne bamunyagako obukadde bw'ensimbi za Kenya 117 mu ddiiru ya zzaabu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...