TOP

Olutalo lw'ettaka lya Bobi Wine lumaze emyezi 6

Added 19th August 2019

Olutalo lw'ettaka lya Bobi Wine lumaze emyezi 6

Fred Nyanzi muganda wa Bobi Wine yayogedde asimba amannyo ku buli kigambo nti: Kamwokya ssi Lusanja! Yazzizzaako kunnyonnyola nti bakoze enteekateeka okulwana olutalo okukakasa nti Bobi Wine n'abantu abalala abali ku ttaka lino tebasendebwa.

Yagasseeko nti: Tulina buli kiwandiiko ekiraga nti ekifo ekyo kya Bobi Wine era yakifuna mu mateeka n'olwekyo tewali agenda kutuggyawo. Mu nteekateeka gye balina mulimu okugenda mu kkooti bagikakase nti omuntu Bobi Wine gwe yagulako yooyo omutuufu eyali nnannyini poloti, okwo bagatteko ebiwandiiko ebirala ebikakasa obwannannyini.

Wabula Nyanzi mu kwogera yalabudde nti, "Abagambibwa okuba bayinvesita nabo twagala bagoberere mateeka kubanga bwe banaasalawo okukozesa effujjo, naffe tulina Pulaani B" Nyanzi yagambye nti ebbanga abantu be baagala okusengula lye bamaze mu kifo ekyo ddene nnyo era amateeka g'ebyettaka gonna gali ku ludda lwabwe, n'olwekyo bagenda kulwana basimbe ne nnakakongo.

Nyanzi yagambye nti olaba balwanirira b'e Lusanja abaasendebwa omwaka oguwedde, naye ate ku kiri ku Bobi Wine yennyini, baakuggyayo amaanyi gaabwe gonna. Yagambye nti bateebereza nga waliwo be yayise Bamafia mu gavumenti abaagala okunyigiriza Bobi Wine olw'enteekateeka z'ebyobufuzi bya People Power z'akolako, wabula nti tebatidde.

Kyokka akulira ekitongole ekiketta munda mu ggwanga ekya ISO Col. Kaka Bagyenda omu ku babadde bagoberera ensonga z'ettaka eryo oluvannyuma lw'okutuukirirwa abagambibwa okuba banannyini lyo yasambazze ebyogerwa nti enkaayana zino zirina akakwate ku byobufuzi by'ekisinde kya People Power, Bobi Wine ky'akulira.

Bobi Wine bwe yatuukiriddwa eggulo yagambye nti omuntu ayogerwako nga yinvesita amuwulira buwulizi era tafunanga ku kiwandiiko kyonna kiva mu baagala kumusengula era tayagala kwogera ku nsonga ezo okutuusa nga bamuwadde ekiwandiiko. Wadde Bobi Wine yagamba nti yali afunye ekyapa, wabula abamu ku batuuze e Kamwokya baatutegeezezza eggulo nti ekyapa yali tannakifuna ng'akyali mu kukigobako, embeera n'etabuka era ne bikoma mu kkubo.

OLUTALO KU TTAKA LUMAZE EMYEZI 6

Olutalo ku ttaka lino lwasituka ku ntandikwa ya March, abagambibwa okuba bannannyini ttaka nga bakulemberwa Ssenfuka lwe baalaalika okusengula abantu abo batwaliremu ne Bobi era ne babawa ennaku 7 zokka.

Wabula enteekateeka eyo yayimiriramu oluvannyuma lw'abali ku ttaka eryo okutuuza olukiiko ne bawakanya eby'okubasengula mu kifo we bamaze emyaka emingi.

Mu lukiiko olwali e Kamwokya, Bobi Wine yayogeza maanyi nti: Etteeka ly'ettaka eriyamba ow'e Munyonyo, Muyenga ne Kololo; lye lirina okuyamba owa "Ghetto" (ebifo by'omugotteko) e Kamwokya n'awalala. Yagattako okulabula nti: Tugenda kugoberera amateeka mu lutalo luno, naye nabo balina okugagoberera.

Bwe banajja n'ekifuba okutuggya wano; tugenda kubalaga nti ako akazannyo aba Ghetto be basinga okukategeera. Kigambibwa nti oluvannyuma lw'okusanga okusoomoozebwa okwo, Ssenfuka ne banne kwe kufuna Bongo ne bamuyingiza mu nteekateeka ezigula era n'akkiriza era kati akasattiro akaliwo ke ka yinvesita eyeesomye okusenda buli kizimbe ekiri ku ttaka eryo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...