TOP

Eyawa poliisi bwino ku Mulo bamuwadde obutwa

Added 19th August 2019

Eyawa poliisi bwino ku Mulo bamuwadde obutwa

 Ndiiku bw'afaanana

Ndiiku bw'afaanana

Omuvubuka Robert Ndiika eyasimattuka okuttibwa abavubuka b'akabinja ka Young Mulo ababba n'okutemula aba bodaboda, asimattuse okufa ogw'okubiri. Baamulungidde obutwa mu bbiya n'atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago ng'addukana n'okusesema.

Lipoota y'abasawo eraga nti baamukebedde ne basanga mu mubiri obutwa obugwa mu kiti kya "orgamophasphate poisoning". Bino biragala eby'amaanyi ebisinga okukozesebwa mu makolero era abakozi abagakolamu kye bava baweebwa bye basiba ku nnyindo (nose masks) baleme kukosebwa biragala bino. Lipoota y'abasawo eraga nti poliisi ye yamututte e Mulago n'ajjanjabibwa nga August 16 ne 17 n'asiibulwa. Bajja kwongera okumujjanjaba ng'ava waka.

Bino we bijjidde ng'omuvubuka munne wa Mulo ayitibwa Sharif Gitta eyakwatibwa ne banne Adam Namudaala ne Shafiq Matovu ayimbuddwa. Baakwatibwa ku ntandikwa y'omwezi guno, nga kigambibwa nti baali bagezaako okutta Ndiika eyabalonkoma okubeera mu kabinja ka Mulo ababba bodaboda n'okutta abazivuga. Mulo ne banne okuli John Bosco Mugisha baakwatibwa oluvannyuma lwa kamera okubakwata ku katambi nga batemula owa bodaboda e Kakeeka-Mengo.

Matovu abadde yaggalirwa ku poliisi e Katwe yayimbuddwa n'alumbirawo akulira poliisi mu Ndeeba. Ku Lwokusatu, Gitta yalumbye Ndiika mu kazigo k'ebibaawo waabadde asula mu Ndeeba n'amwewaanirako nga ye bw'atasobola kuvundira mu kkomera era kaakomyewo agenda kumusaanyawo n'atwala poliisi ya Kironde mu Ndeeba eyamukwata. Ndiika yagguddewo omu- Bukedde 5 Mmande August 19, 2019 amawulIre Bye boogera Lawrence Mbabaali:

Ekiri mu ggwanga kyetaaga kusiiba na kusabirwa, abakyamu bababiibiita ate abatalina musango ne batulugunyizibwa, eky'okuyimbula omuvubuka Gitta kye kivuddeko ono okuweebwa obutwa. Hajati Mastula Nakasi: Enguzi eyasukka mu poliisi etumazeeko obuweerero, kati mazima omutemu eyakwatibwa emuta etya nga temuvunaanye. Kati ayagala kutta balala, poliisi tekyatulumirirwa ffe abantu baabulijjo.

Umar Ssekabira Mata: Poliisi y'e Katwe ekoze kinene okukuumira abamenyi b'amateeka mu kitundu, olubakwata ng'ebatwala e Katwe nga babata, ono Gitta naye gye yavudde kati akomyewo kuwa bantu butwa olwo ffe abaamukwata agenda kutukolaki! nti baafunye amawulire ku ssaawa emu ey'akawungeezi nti Ndiika alabika aweereddwa obutwa. Yagenze okutuukayo nga takyategeera kwe kuleeta kabangali ya poliisi okuva e Katwe eyamututte mu ddwaaliro.

sango gw'okumutiisatiisa okumutuusaako obulabe ku poliisi ya Kironde kyokka waayiseewo ennaku bbiri n'aweebwa obutwa. Agamba: Ku Lwokutaano akawungeezi nnava ku poliisi ya Kironde okudda we nsula. Nnaguze eky'okunywa era nnabadde ku lubalaza nga nnywa ne wabaawo eyazze okumbuulira ku kibiina ekiwola abantu okweggya mu bwavu. Yabadde akyannyonnyola ne mpulira olubuto nga lunnuma. Mu kaseera katono ne mba bubi nnyo era okuddamu okutegeera nga ndi ku kitanda e Mulago w'e Kiruddu nga bantaddeko eccupa. Abasawo bantegeezezza nti poliisi ye yandeese nga nywedde obutwa.

Ndi mu kutya kungi, obulamu bwange buli mu matigga naddala okuva poliisi bwe yayimbudde Gitta eyannumbiddewo n'antgiisatiisa okunsaanyawo. Atwala poliisi ya Kironde mu Ndeeba, Justus Bwire agambye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Muzaata

Embeera ya Muzaata mu ddwaa...

OBULWADDE obuluma Sheikh Nuhu Muzaata Batte bwazze nga musujja okukkakkana ng'ali ku kitanda mu IHK Kampala. Assiddwa...

Minisita Kamuntu (wakati) n'abamu ku bammemba ba UPRS.

Minisita atongozza olukiiko...

Minisita w'ebyamateeka , Polof. Ephraim Kamuntu atongozza olukiiko olufuzi olw’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abayiiya...

Abataka nga bakwasa Museveni effumu n'omuggo.

Museveni alaze by'agenda ok...

PULEZIDENTI Museveni akkirizza okuwaayo ettaka okuli ekibira kya Nauyo- Bugema ekisangibwa mu kibuga kye Mbale...

Akabonero ka manvuuli aka NUP akagenda okukozesebwa aba NUP mu kulonda..jpg

Aba NUP beemulugunya olwa b...

AB'EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) balaze obwennyamivu olw'obutali bwenkanya obugenda mu maaso n'okubakolebwako...

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...