TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulamuzi Kakuru anenyezza abeetuumako ebyobugagga ebisusse

Omulamuzi Kakuru anenyezza abeetuumako ebyobugagga ebisusse

Added 19th August 2019

Omulamuzi Kenneth Kakuru alumbye abantu abasussa okwagala ebyobugagga ne babyetuumako nga n'ebimu tebabifuna mu makubo matuufu.

Omulamuzi wa kkooti y'oku ntikko, Kenneth Kakuru asiimye nnyina okubakuza nga si baluvu ekibayambye okukula nga tebeetuumako bya bugagga omuli n'ebitali byabwe.

Bino yabyogeredde ku mukolo gw'okujagulizaako nnyina Canon Roza Kamuzanguzi  okuweza emyaka 100  mu maka ge e Rwebishuri.

Yatenderezza bakadde baabwe okubakuza nga bamanyi ennaku n'anenya abantu ensangi zino abeetuumako ebyobugagga; n'abuuza nti ddala kiki ekituusa omuntu okugeza, okuba n'emmotoka empitirivu awaka n'amayumba!

Yagambye okukuzibwa mu mbeera bw'etyo kimuyambye okuba omwetowaze n'okuba n'emikwano.

Yagasseeko nti baazaalibwa abaana 13 kyokka basigadde bana bokka.

Waasooseewo kusaba okwabadde mu kkanisa ya Eden International School  mu kibuga Mbarara. Okusaba kwakulebeddwaamu Ssaabalabirizi Stanley Ntagali ate okubuulira ne kukolebwa Omulabirizi wa West Ankole,  Rev Canon Johnson Twinomujuni.Omukolo gwetabiddwaako abalamuzi abasoba 20  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...