TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni ne Kagame bagenda kuddamu okusisinkana ku by'obutakkaanya

Pulezidenti Museveni ne Kagame bagenda kuddamu okusisinkana ku by'obutakkaanya

Added 19th August 2019

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana oluyinza okuyamba amawanga gombi okutuuka ku okumalawo obutakkaanya obwatuusa ne Rwanda okuggala ensalo zaayo ne Uganda

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame  enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu  okusisinkana mu Angola  mu lukung'aana oluyinza okuyamba amawanga gombi okutuuka ku okumalawo obutakkaanya obwatuusa ne Rwanda okuggala ensalo zaayo ne Uganda.

  Rwanda yaggala ensalo zaayo ne Uganda mu February 2019   n'egaana ebyamaguzi bya Uganda okuyingirayo . Yagenda maaso n'okugaana bannansi baayo okuddamu okujja mu Uganda ng'egamba nti batulugunyizibwa era bangi bali mu makomera. 

Rwanda erumiriza  Uganda okubudamya  abantu abagisekeeterera   era  nti  eddobonkanya  ebyenfuna bya Rwanda.

  Bino Uganda ezze ebyegaana n'egamba nti ssi bituufu n'egamba nti bannansi ba Rwanda abakwatibwa  baba bamenye amateeka ga Uganda.

Wabula  emikutu gy'amawulire egitali gimu nga gyesigama ku kuwandiiko ekyafulumiziddwa  Pulezidenti wa Angola , João Lourenço gyategeezezza nti Pulezidenti Museveni , ne  Kagame nga bali  wamu  ne Felix  Tshisekedi owa Congo baabadde bagenda kusisinkana mu Angola enkya ku Lwokusatu  mu lukiiko  olusuubirwa okuyamba Uganda okutuuka ku kukkaanya ne Rwanda.

Ensisinkano eno egenda kwetabwamu abakulembeze ba Congo Tshisekedi  ne Pulezidenti wa Angola Joao Lourenco eyawoma omutwe mu kutabaganya abakulu bombi.

Ensisinkano y'enkya eddiridde okusisinkana kw'abakulu bano okwaliwo nga  July 12, nga kwali mu lukiiko olwayitibwa Pulezidenti wa Angola  Lourenco nga lwetabwamu ne Pulezidenti wa  Congo Tshisekedi .

Olukiiko luno (olwa July)  lwagendererwamu okumalawo obutakkaanya bw'amawanga Uganda ne Rwanda era nga lwayogera ku byokwerinda n'okunyweza emirembe n'enkolagana y'amawanga gano ana.

Omwogezi wa Pulezidenti Museveni, Don Wanyama yategeezezza olupapula lwa New Vision nti Pulezidenti Museveni kituufu agenda mu lukiiko e Luanda mu Angola kyokka  n'agamba nti takakasa oba eby'okukkaanya wakati wa Uganda ne Rwanda binaateesebwako oba nedda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...