TOP

Liirino eddwaaliro Babirye gy'ali

Added 20th August 2019

Babirye nga ye mubaka omukazi owa Buikwe mu palamenti yagenda mu Amerika mu April omwaka guno oluvannyuma lw’okusaba Sipiika olukusa okugenda okujjanjabibwa.

 Judith Babirye

Judith Babirye

Bya Basasi Baffe

Judith Babirye bwe yagenda mu Amerika gy'ali kati yatuukira wa Muky. Margaret Bukirwa e Boston mu ssaza ly'e Massachusetts. 

Wano we yava okugenda mu ddwaaliro ggaggadde erya Mass General Hospital gy'afunira obujjanjabi ng'ava bweru. Eddwaaliro lino likwata ekifo kyakubiri mu ago agasinga okujjanjaba mu Amerika. 

Bukirwa muganda wa Nnampala w'ababaka ba NRM mu palamenti Muky. Ruth Nankabirwa.

Wabula wadde wano we yatuukira, ekifo w'ava okugenda mu ddwaaliro kisirikiddwa.
 
Babirye nga ye mubaka omukazi owa Buikwe mu palamenti yagenda mu Amerika mu April omwaka guno oluvannyuma lw'okusaba Sipiika olukusa okugenda okujjanjabibwa.

Amaka ga Margaret Bukirwa gasangibwa ku luguudo 46 Garden Circle Waltham MA 02452.

Kyokka ensonda zaategeezezza nti Babirye ebiseera ebisinga mu Amerika abimala mu kusaba n'okutendereza ng'ali ne Munnayuganda Emma Balabyekubo.
 
Balabyekubo ye musumba omubeezi mu kkanisa y'abalokole eya Victory esangibwa e Waltham.

Ekkanisa eno ekulirwa Paasita Samuel Kasozi. Era emirundi Babirye gy'abadde agenda mu Amerika abadde asabira mu kkanisa eno era olumu baamutegekera ekivvulu ky'ennyimba z'eddiini. Amaze kati emyezi munaana nga mulwadde okuva mu December 2018.

Sipiika Rebecca Kadaga yategeeza Palamenti nga January 19, 2019 nga Babirye bw'ali omulwadde. Yasooka kujjanjabirwa mu malwaliro ga wano okuli Nakasero kyokka mu April n'agenda mu Amerika.

Obulwadde bwa Babirye yabusirikira n'aleka abantu naddala abalonzi b'e Buikwe mu kuteebereza.

Bakakuyege be baasooka kutegeeza nti yali aweereddwa obutwa nga kimwetaagisa ekiseera okubumunuunamu y'ensonga lwaki yali takyalabika mu konsitityuwensi.

Oluvannyuma amawulire ne gasasaana nti ali lubuto era mu Amerika abaayo babadde bawandiika ku mikutu gya yintaneti nga balaga bw'ali olubuto era ku nkomerero y'omwezi oguwedde baamutegekedde akabaga aka "baby shower" akaabaddeko abantu abatono. 

Kyokka Bukedde teyasobodde kukakasa kiki ekiruma Babirye.

Omu ku Bannayuganda ababeera e Boston yategeezezza nti yasanga Babirye mu ddwaaliro lya Mass General n'amutegeeza nti mulwadde era asuubira okumala ekiseera mu Amerika ng'ajjanjabibwa.
 
Babirye afubye obuteeraga nnyo mu bantu era ne Bannayuganda abali mu Amerika abakulemberwa Kabuye owa People Power bagezezzaako okumusoomooza lwaki agenda okujjanjabirwa mu Amerika ate nga bulijjo awa obubaka ng'alaga nti mu Uganda ebintu biri bulungi.

   naalongo lwe yakyazizza sebulime 

Nnaalongo lwe yakyazizza Ssebulime.

Era n'amalwaliro gaffe geeyongedde okuba amalungi nga tekikyetaagisa muntu kugenda bweru kujjanjabibwa.

 wooluganda lwa naalongo ngayaniriza sebulimeOwooluganda lwa Nnaalongo ng'ayaniriza Ssebulime.

 
ABALI MU AMERIKA BASABYE BEEKALAKAASE

Wiiki ewedde Bannayuganda e Boston abeeyita abawakanya Gavumenti baawaddeyo okusaba eri aboobuyinza babakkirize okwekalakaasa nga bawakanya Babirye okujjanjabirwa mu Amerika.

Baasaba okwekalakaasa kubeerewo leero ku Lwokubiri. Wabula we bwazibidde eggulo nga Bukedde tannakakasa oba ng'olukusa lwabadde lubaweereddwa.

Ensonda endala zaategeezezza nti Babirye okugenda mu Amerika kyaddirira obutakkaanya obwabalukawo ne bba Paul Musoke Ssebulime gwe yayanjula nga June 27, 2018 ku wooteeri ya Las Vegas e Kawuku ku lw'e Gaba.
 
Ssebulime nga naye mubaka wa Palamenti owa Buikwe North kigambibwa nti yeeyambula empeta, Babirye gye yamusiba.

ddwaaliro gye bajjanjabira abiryeEddwaaliro gye bajjanjabira Babirye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...