TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte abadde yeeyita ow'ebyokwerinda n'anyaga abantu

Poliisi ekutte abadde yeeyita ow'ebyokwerinda n'anyaga abantu

Added 21st August 2019

Segawa okumukwata kyaddiridde omusuubuzi Bannet Kiru akolera ku Nkurumah okwekubira enduuluku poliisi nga bwe yamukubira essimu ng’amutiisatiisa nga bwe yamufunyeeko amawulire nga bw’ataasasula kasooli era ng’akakiiko ka Lt. Col. Edith Nakalema kamunoonya ssaako ne ofiisi ya Kaliisoliiso.

 Hamidu Segawa eyakwatiddwa.

Hamidu Segawa eyakwatiddwa.

POLIISI  ng'eyita mu kitongole kyayo ekirwanyisa abazigu b'emmundu ekutte omusajja abadde yeeyita ow'ebyokwerinda n'okukolera ebitongole ebyenjawulo n'ekigendererwa ky'okubanyaga.

Bino byabaddewo ku Mmande abaserikale okuva mu Flying Squad bwe baakutte Hamidu Segawa  abadde agenda nga yeeyita omukozi mu bitongole ebyenjawulo n'okweyita omuserikale n'atiisatiisa abantu n'ekigendererwa eky'okubaggyako ssente.

Amyuka Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Segawa okumukwata kyaddiridde omusuubuzi Bannet Kiru akolera ku Nkurumah okwekubirayo enduulu nga bwe yamukubira essimu ng'amutiisatiisa nga bwe yamufunyeeko amawulire nga bw'ataasula kasooli era ng'akakiiko ka Lt. Col. Edith Nakalema kamunoonya ssaako ne ofiisi ya Kaliisoliiso.

"Twafunye okwemulunya okuva ew'omusuubuzi nga bwe waliwo amutiisatiisa era n'aggulawo omusango abaserikale ne bagendayo ne bakwata Segawa abadde yeeyita omuserikale n'okukolera ebitongole eby'enjawulo," Owoyesigyire bwe yategeezezza.

Yagambye nti Kiru yabuulidde poliisi nga Segawa bwe yasooka n'amukubira ssimu nga bw'asobola okukola naye bizinensi n'ekitongole ky'amakomera  wabula oluvannyuma n'amukubira ng'amutegeeza nga bwe yafunye amawulire nga bwe waliwo okumunoonyerezaako ate oluvannyuma n'amukubira nti akolera mu kitongole ky'amakomera.

Yategeezezza nti  Kiru nga musuubuzi wa birime  yaggulawo fayiro nnamba SD:12/10/08/2019 era bwe yalabye nga Segawa agenze mu ofiisi ye n'ayita abaserikale abaamukutte.

Yagasseeko nti Segawa abadde anoonyezebwa ku misango egyekuusa ku kuggya ssente ku bantu  egyamuggulwako ku Special Investigations Unit  (SID) e Kireka  ng'ogumu ku gwo gwakuggyako Hamis Lubega ensimbi 600,000/- oguli ku fayiro nnamba SD 04/15/08/2019. n'okuggya ensimbi 700,000/- ku Rose Birungi n'amuggulako omusango ku fayiro nnamba SD 04/10/08/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...