TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ba Imaam mu Lwengo balabuddwa ku kuwoowa abatanneetuuka

Ba Imaam mu Lwengo balabuddwa ku kuwoowa abatanneetuuka

Added 21st August 2019

"Kitalo nnyo okusanga Imaam omulamba nga gwe akuliddemu emikolo gy'okuwoowa omwana ow'emyaka 14, bannange obwo bukulembeze nabaki!.

 Abakulembeze b'Abasiraamu abaagugumbuddwa Khadi waabwe, Sheikh Ibrahim Ismeal Kibuule (mu katono).

Abakulembeze b'Abasiraamu abaagugumbuddwa Khadi waabwe, Sheikh Ibrahim Ismeal Kibuule (mu katono).

Bya FLORENCE TUMUPENDE

DISITULIKITI Khadi w'e Lwengo, Sheikh Ibrahim Ismael Kibuule agugumbudde ba Imaam b'emizikiti egiri mu Lwengo abeegumbulidde omuze gw'okuwoowa n'okufumbiza abaana abatanneetuuka nga bw'agenda okubasiba awatali kuttira muntu ku liiso. Yagambye nti kino kijja kuyambako abalala abeekwese okukikomya kuba be bavuddeko okuvumaganya eddiini n'obungi bw'abaana abawanduka mu masomero okweyongera.

"Kitalo nnyo okusanga Imaam omulamba nga gwe akuliddemu emikolo gy'okuwoowa omwana ow'emyaka 14, bannange obwo bukulembeze nabaki!.

Lwaki totumya ku boobuyinza ne bakwata abazadde b'omwana oyo eggwanga ne litereera. Nze mu buweereza bwange ebyo sigenda kubikkiriza era bw'oba omanyi nti olina omwana gw'oyagala okuwandula mu ssomero omufumbize ng'olulunkanira omwenge ne bussukaali obutaliimu eyakwalula esiridde," Sheikh Kibuule bwe yategeezezza.

Bino yabyogedde alambika abakulu b'amatwale ne ba imaam b'e Lwengo ng'abalaga ebyo by'ateekeddwa okusookerako okukola oluvannyuma lw'okutuuzibwa ku bwa Khadhi obujjuvu nga ku Lwokusatu lwa wiiki ejja.

Okugumbula ba imaam kiddiridde ba imaam babiri (amannya gasirikiddwa) abaakwatibwa nga bawoowa abaana abatanneetuuka mu ggombolola y'e Lwengo nga bano bavunaanibwa ng;amateeka bwe galagira.

Kuno agasseeko okutumbula ebyenjigiriza mu Lwengo nga tasosodde mu ddiini yadde obuwangwa wabula n'alabula abazadde abagayadde mu kusomesa abaana babwe n'asaba abakulembeze okumuyambako bakangavvulwe.

Bo Abasiraamu baamuloopedde ng'enkaayana z'Abasiraamu bwe zibatamye n'abasuubiza bw'agenda okukinogera eddagala kirabike nga mu buweereza bwe Abasiraamu bakwatagana bulungi era n'abakuutira okwenyigira mu kukola kuba ekireeta ebyo byonna buba bwavu nga buli omu asika azza wuwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...