TOP

Mao abalaatidde mu nsonga za Anite

Added 21st August 2019

Mao abalaatidde mu nsonga za Anite

 Nobert Mao

Nobert Mao

PULEZIDENTI wa DP, Nobert Mao abalaatidde mu nsonga za minisita Evelyn Anite nti akyakaaba nnyo bw'aba abadde takimanyi nti abantu b'alwanyisa be bannannyini Gavumenti.

Bino Mao yabyogeredde mu lukuhhaana lwa bannamawulire ku kitebe kya DP mu Kampala n'agamba nti bulijjo Anite yeetwalira waggulu nga tamanyi nti atudde ku kameeme nga waliwo bannannyini kintu ate nga b'abadde alwanyisa.

Mao (mu katono) yategeezezza nti, yeewuunya leero okulaba minisita Anite ng'akaaba nti, bamafia baagala kumutta kyokka nga bulijjo abawaana era nga ye yasinga n'okuwagira eky'okuggya ekkomo ku myaka gy'omukulembeze w'eggwanga. Yalabudde abali mu gavumenti eno okumanya we bakoma nga bagikolera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...