TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi y'e Njeru ekutte ekibinja ky'abagambibwa okubbisa emmundu

Poliisi y'e Njeru ekutte ekibinja ky'abagambibwa okubbisa emmundu

Added 21st August 2019

Poliisi y’e Njeru ekutte ekibinja ky’abagambibwa okubbisa emmundu

POLIISI y'e Njeru esangibwa mu kitundu kya Ssezzibwa akoze ekikwekweto n'ekwata akabinja k'ababbi abagambibwa okutta, okubbisa emmundu n'ebikolwa ebirala ebyefujjo ku bantu mu kitundu kino.

Ekikwekweto kino kyayindidde mu bitundu by'e Mbiko, Namwezi, Kyabaggu ekisangibwa mu Tawuni kanso y'e Njeru mu disitulikiti y'e Buikwe.

Ekibinja kino kimanyiddwa nga "'Boys Boys" era nga kibadde kikulirwa "Kapol" eyakwatiddwa okusooka ku Mmande ya wiiki eno oluvannyuma n'aloopa banne abalala 11. Bano baasangiddwa n'ebintu omuli bbatuuni za poliisi n'ebyuma ebimenya ennyumba.

Abakwate bano kigambibwa nti baasangiddwa n'ebyambalo by'amagye mu nnyumba mwe babadde basula bwe baabadde baaza era okubakwata baabadde balina ennyumba gye baabadde bagenda okumenya.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kino, ASP/ Hellen Butoto yagambye nti abakwate bonna bakyakuumirwa ku kitebe kya poliisi y'e Njeru mu Buikwe ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...