TOP

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600

Added 21st August 2019

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600

Eria Lukwago

Eria Lukwago

LOODI meeya Erias Lukwago Kkooti Enkulu eragidde Gavumenti okumusasula ssente obukadde 600 ze yalina okufuna wakati wa 2013 ne 2016 bwe yali aggyiddwa mu ofiisi y'Obwaloodi meeya mu bukyamu.

Mu 2013 bakansala ba KCCA baagoba Lukwago mu ofiisi y'Obwaloodi meeya wabula nga tebaakuba kalulu Lukwago n'abasalira amagezi n'agenda mu kkooti. Baagenda okuddamu tuula okukuba akalulu oba nga bamuggyamu obwesige nga kkooti yabayimiriza dda kyokka ne bagenda mu maaso okugoba Lukwago mu ofiisi.

Gavumenti yagaana okusasula Lukwago omusaala n'akasiimo ke mu bbanga lya myezi 30 okuva bga December 2013 okutuuka May 2016 ng'egamba nti ebbanga eryo teyali mu ofiisi.

Omwaka oguwedde Lukwago yaddukira mu Kkooti Enkulu n'aggula omusango ku Ssaabawolereza wa Gavumenti, Dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi ne minisita avunaanyizibvwa ku nsonga za Kampala Olive Kamya olw'okugaana okumusasula naye nabo ne balemerako nti tebasobola kukkiriza kumusasula kubanga teyali mu ofiisi ate yagaana okuggyayo emisango gyonna gye yali abagguddeko.

Omulamuzi Andrew Bashaija yasaze omusango n'agamba nti Lukwago obutamuwa musaala gwe okumala emyezi 30 nga tali mu ofiisi kyakolebwa mu bukyamu kubanga bakansala baagenda okukuba akalulu okumuggyamu obwesige, kkooti yali emaze okubayimiriza ekitegeeza nti, byonna bye baali bakola tebyali mu mateeka.

Agasseeko nti ekiragiro ekizza Lukwago mu ofiisi tekyali kimu wabula byali bya balamuzi abawerako kyokka baabijeera nga kati balina okumusasula ssente zonna ze yalina okufuna.

Lukwago abadde abanja omusaala gwa bukadde 563 nga zino kkooti eragidde zimuweebwe era n'egattako n'okumwongera obukadde 100 olw'okumulumya n'okumutaataaganya omugatte bwe bukadde obusoba mu 600 bagatteko ne ssente zonna z'asaasaanyiza mu musango guno

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...