TOP

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Added 21st August 2019

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

ABATUUZE mu ggombolola y'e Ngogwe mu disitulikiti y'e Buikwe bawaddeyo ebirowoozo byabwe eri akakiiko akagatta enzikiriza mu Gwanga ku ngeri gye baagala Ssemateeka w'egwanga gye baagala akyusibwemu ku ngeri gye baagala okukulemberwamu Abatuuze balumirizza abakungu ba Gavumenti okuvvoola Ssemateeka aliwo mu kiseera kino mwe basinzidde okusaanyaawo ebibira, entobazzi n'okutyoboola eddembe ly'obuntu n'ebawa endowooza zaabwe nti, wabengawo ebbanga eggere okubaako kye bakyusa mu Ssemateeka.

Abakulembeze b'abakiiko akagatta enzikiriza mu Uganda aka Inter Religious Council akaaweebwa omulimu gw'okukuhhaanya endowooza z'abantu ku ngeri gye baagala okukulemberwamu kaabadde mu disitulikiti y'e Buikwe okufunamu endowooza z'abantu Baakumbeddwaamu ssentebe w'akakiiko kano Bp. Dr. John Kakembo ow'Abadiventi eyawummula n'omuwandiisi w'akakiiko Joshua Kitaakule.

Baakutuuka mu disitulikiti endala okuli; Luuka, Katakwi, Gulu ne Kaabalore Dr. Kakembo agambye nti baategeeza Pulezidenti Museveni nti ebintu tebigenda bulungi era Uganda eyinza okufuna obuzibu kyokka nga ye agamba nti, embeera nnungi era n'abakkiriza batambule eggwanga bakuhhaanye ebirowoozo by'abantu ku ngeri gye baagala Uganda ekulemberwemu Agambye nti essira baalisa ku nsonga musanvu okuli; 1 Entalo mu byobufuzi

2 Okusengula abantu

3 Obutonde bw'ensi

4 Ebyobulamu

5 Ebyenfuna 6Obuweereza eri bannansi

7 Okussa ensonga zino mu nkola Baasoose kusisinkana bakulembeze ba disitulikiti n'oluvannyuma ne basisinkana abakulembeze ku mutendera gw'eggombolola n'abantu abassibwamu ebitiibwa ouwa endowooza zaabwe. Abatuuze baasabye okusiba Ssemateeka obutabeera wa kuzannyirako buli kiseera lwe wabaawo obwetaavu bw'abantu ssekinnoomu n'akyusibwa.

Ku bibira n'entobazzi bagala wassibwewo obukiiko ku butonde bw'ensi nga bulina obuyinza okukwata abatema ebibira n'abookya amanda kuba bangi bakolagana ne NFA oba NEMA ne basaanyaawo ebibira n'okwonoona entobazzi.

Bagamba nti okuva edda ng'abatuuze babeera n'ebibanja ebiriraanye ebibira kyokka nga tewali atema muti mu kibira okugyako okusennyaayo enku nti kyokka kati ebibira bitemwa balaba.

Baawadde amagezi Pulezidenti abeere n'obuyinza ku nsonga z'ettaka ng'ayinza okuyisa ekiragiro n'ayimiriza abantu ababeera bagobeddwa mu bibira obutabaawo mulala aliddako.

Baawadde ekirowoozo ku bamusigansimbi abagula ebyalo ne batema emiti n'okusaanyaawo ebibira n'okutunda emiti egikuumiddwa emyaka n'ebisiibo nga egya lubaale kibuyaga n'adoobya ebyalo.

Era baagala wabeerewo enkyukakyuka mu byenjigiriza ng'omwana ali mu UPE asobola okuvuganya n'asomera mu ssomero ly'obwannannyiniokugenda mu yunivasite e Makerere. Ababba ensimbi z'omuwi w'omusolo ebyabwe babibowe n'ebibonerezo ebikambwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...