TOP

Omusomesa afiiridde mu kabenje ne bba

Added 22nd August 2019

Omusomesa afiiridde mu kabenje ne bba

 Omwana wa Nabunnya eyasimattuse mu kabenje kano.

Omwana wa Nabunnya eyasimattuse mu kabenje kano.

LOOLE zitomereganye omukazi ne bba ne bafiirwo, kyokka bbebi waabwe gwe baabadde naye n'asimattuka akabenje kano mu ngeri ey'ekyewuunyo. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto yategeezezza nti, bbebi eyawonye okufa wa myezi mukaaga era nga teyatuusiddwaako kisago kyonna era yabadde ali mu mbeera nnungi.

Linet Nabunnya omusomesa wa pulayimale yavudde ku ssomero ku lunaku lwa Mande n'agenda e Lira okulaba ku bakadde abamuzaalira omwami n'okubatwaalira ku mwana gw'abadde yaakazaala.

Wabula eby'embi Nabunnya ne bba Robert Watuwa omuvuzi wa loole lukululana baabadde bakomawo okuva gye bazaala Watuwa nga batuuse mu kifo ekiyitibwa Lugalambo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja, loole yaabwe n'etomeregana ne loole endala ne bafiirawo n'abantu abalala babiri abaabadde mu loole endala. Loole ey'ekika kya FUSO yabadde etisse nnyaanya okuziggya mu Uganda okuzitwala e Kenya nga yabaddemu abantu babiri nabo abaafiiriddewo.

Nabunnya abadde musomesa wa pulayimale mu St. Kizito Nakatyaba P/S mu ggombolola y'e Buikwe mu disitulikiti y'e Buikwe. Omukulu w'essomero eryo Paulo Ahimbisibwe yatuuse awaagudde akabenje n'atunula ku mulambo gwa Nabunnya n'atulika n'akaaba n'agamba nti, afiiriddwa omusomesa omulungi ng'emyaka ebiri gye babadde baakamala naye buli omu abadde amwenyumirizaamu.

Ahimbisibwe agambye nti ku makya yafunye essimu okuva eri omuserikale wa poliisi eyamubuuzizza oba amanyi Linet Nabunnya n'amuddamu nti, amumanyi era ono ye yamutegeezezza nti, afiiridde mu kabenje kwe kusitukiramu n'adduka okutuukawo nga Nabunnya yakaze dda.

Ye Flavia Nakagiri muganda wa Nabunnya,agamba nti, omugenzi yabasiibula ng'agenda era yamutegeeza nti, bba yali amuyise kyokka eyo gye baayitira ne batuuka ne mu bakadde ba bba ne babalabako kyokka yazzeemu okuwulira nti afiiridde mu kabenje. Akulira Poliisi y'ebidduka mu kitundu kya Ssezibwa, Israel Wambesho agambye nti akabenje kano kaaguddewo ku ssaawa 8:00 ez'ekiro ekyakeesezza Olwokusatu nga mmotoka zino zaatomereganye bwenyi ku bwenyi.

 batuuze nga batwala ennyaanya ezaabadde mu Abatuuze nga batwala ennyaanya ezaabadde mu FUSO.

Agambye nti bakyanoonya ekituufu akabenje kwe kaavudde era n'akakasa nti, abantu bana be baafiiridde mu kabenje kano nga kuliko omukazi omu n'abasajja basatu .Abantu ababiri abaabadde mu FUSO emirambo gyabwe gyagoyeddwa nnyo nga gyabadde tegikyategeerekeka.

Tuleera eyatomedde ya SEROMA nga eri nnamba UAM 678L/UAS 846K yabadde etisse seminti ng'eva Jinja okudda e Kampala ate loole y'ekika kya FUSOI yabadde ku nnamba KCG 503F yabadde yeetisse nnyaanya ng'ezitwala Kenya.

Abadduukirize abaasoosewo ng'akabenje kaakagwawo baatuukidde mu kunyaga seminti ate abamu ne bayoola ennyaanya era we bwakeeredde ku makya ng'abantu bakyayoola seminti ne nnyaanya. Ategeezezza nti abaafudde abalala kubaddeko Samuel Gatuwa ow'e Kitale mu Kenya nga y'abadde nannyini nnyaanya ne ddereeva wa Fuso Steven Nuwangi abeera e Nakuru mu Kenya era emirambo gyabwe gyatwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro ly'e Kawolo era n'omwana n'atwalibwa mu ddwaaliro lye Kawolo abasawo bongere okumwekebejja.

Butoto ategeezezza nti, poliisi yakolaganye n'abatuuze abaagiyambye okuyoola ennyaanya mu luguudo olubadde luseerera era mmotoka zaasoose okusibwa okumala ssaawa nnamba nga tewali etambula kyokka oluvannyuma zaatambudde. Vincent Kafeero nga ono ddereeva mu kkampuni ya Seroma ategeezezza nti ddereeva munne Robert Watuwa yabadde avuga tuleera ya seminti ng'amutwala Kampala okuva e Tororo.

Yayongeddeko nti akabenje kaavudde ku tulakita ya Metha ebadde eyingira oluguudo ng'eva mu bikajjo ddereeva wa tuleera gye yeekanze n'awugula obutagitomera kyokka ku ludda lwe yazzeeko gye yasanze Fuso ne batomeragana bwenyi ku bwenyi. OBUBENJE OBULALA Akabenje kano kagenze okugwawo nga waakagwa obubenje obulala bubiri mu nnaku ssatu omwafiiridde abantu 32.

Akabenje akamu kaagwa Rubiriizi, lukululana y'amafuta bwe yalemerera ddereeva waayo n'esaabala emmotoka zaabuyonjo ezimu nga zirimu abayizi b'amasomero abaali bagenda okulambula ekkuumiro ly'ebisolo erya Queen Erizabeth.

Omuliro ogwakutte emmotoka ennya, amaduuka n'ebizimbe ebiriranyeewo era abantu 22 ne batokomokera mu muliro. Ate akabenje akalala kaabadde ka bbaasi ya YY omwafiiridde abantu 10. Bbaasi yabadde eva Kampala ng'egenda Mbale ku Ssande n'etomera takisi nnamba UAV 689E eyabadde egezaako okuyisa emmotoka endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...