TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyaziririra muggyawe abaana ng'amulumiriza okumubbako omusajja bimusobedde: Abakooye n'abasuula ku poliisi

Eyaziririra muggyawe abaana ng'amulumiriza okumubbako omusajja bimusobedde: Abakooye n'abasuula ku poliisi

Added 22nd August 2019

Kisaakye agamba baayawukana ne bba Sharif Walukagga n'abaana n'abamuwa n'abatwala ewa Nakalema naye n'afumbirwa omusajja omulala nga tayinza kwesibako baana bakulu batyo kumulemesa musajja we mupya.

 Abaana ba Kisaakye (mu katono) be yabadde yeegaana.

Abaana ba Kisaakye (mu katono) be yabadde yeegaana.

Bya JAMES MAGALA

WAABADDEWO  katemba ku Poliisi ya Paaka Enkadde mu Kampala omukazi Lamula Kisaakye omutuuze w'e Ndejje Kanaaba bwe yeesuddemu jjulume n'aziririra muggyawe Edith Nakalema abaana basatu be yeezaalira ng'amulumiriza okumubbako omusajja.

Katemba ono addiridde Nakalema okuddukira ku poliisi ya Paaka Enkadde ne yeekubira enduulu nga muggya we bwe yamusuulira abaana kyokka ate n'omusajja n'amuddukako n'atabawa buyambi.

Poliisi wano weekwatidde Kisaakye annyonnyole lwaki asuulira muggyawe abaana kyokka Kisaakye olwatuuse ku Poliisi n'alayira nga bw'atayinza kutwala baana be olw'ensonga nti Nakalema yagenda okumubbako omusajja ng'alaba ajja kumusobola n'abaaana be.

Kisaakye agamba baayawukana ne bba Sharif Walukagga n'abaana n'abamuwa n'abatwala ewa Nakalema naye n'afumbirwa omusajja omulala nga tayinza kwesibako baana bakulu batyo kumulemesa musajja we mupya.

Nakalema bino alabye biri bityo n'awera nga naye bw'atayinza kwetikka mugugu gutali gugwe era wano w'asabidde poliisi okubataawulula. Abapoliisi balagidde abaana okubalaga nnyabwe omutuufu era ne basonga ku Kisaakye abadde abeegaana ekitabudde abantu ne bamuvuma.

Nakalema agamba nti amaze emyaka etaano ng'alabirira abaana ba Kisakye nga kwe kuli n'okubasomesa awatali amuyambako naye alemereddwa kwe kusalawo abaddize nnyaabwe era wano abaleesewo n'atambula n'agenda.

Abasirikale balagidde Kisaakye atwale abaana be kyokka ne yeerema okukkakkana nga bakubidde Walukagga ajje anone abaana be.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...