TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lukwago ayagala ennongoosereza mu musolo gw'amayumba

Lukwago ayagala ennongoosereza mu musolo gw'amayumba

Added 22nd August 2019

Lukwago ayagala ennongoosereza mu musolo gw’amayumba

 Loodi Mmeeya Ssalongo Erias Lukwago

Loodi Mmeeya Ssalongo Erias Lukwago

LOODI Meeya Erias Lukwago asabye ennongoosereza ekolebwe ku kusasula omusolo gw'amayumba mu Kampala ogubaddeko okusika omuguwa n'ategeeza nti abalina ennyumba ezipangisibwa nga tezivaamu ssente ziwera bukadde omwaka basonyiyibwe omusolo.

Ate abalina ennyumba ezipangizibwa nga zivaamu ssente wakati w'obukadde butaano ne 20 omwaka bassibweeko omusolo gwa bitundu bisatu ku buli 100 (3%). Abagagga abalina akeedi n'amayumba ag'ebbeeyi bassibweeko omusolo gwa bitundu bitaano ku buli 100 ( 5 %) okusobola okuyamba bamufuna mpola.

Abyanjudde mu lukiiko lwa bakansala olufuga Kampala lwe yakubirizza eggulo ku City Hall Kyokka omumyuka wa dayirekita wa Kampala, Samuel Sserunkuuma yamuwakanyizza n'amusomera ekiwandiiko ekyabaddemu ensonga lwaki enkola eno mbi.

Yamugambye nti singa kikolebwa KCCA eyolekedde okufiirwa ensimbi ezisoba mu buwumbi 30 omwaka era n'ategeeza nti ebiyinza okuva mu kino be bakansala ne bannabyabufuzi okufiirwa ensako yaabwe n'okukendeeza ku hhendo zebabadde batambula ebweru w'eggwanga.

Yagambye nti baasonyiwa dda abaali baalemwa okusasula ssente ekitongole ne kifiirwa obuwumbi 100 ate tebasobola kuddamu kuzibikira makubo mubadde muva ssente n'agamba nti abantu bateekeddwa okusasula ebitundu mukaaga ku buli 100 ezakkirizibwa minisita Beti Kamya.

Ekiteeso kyagulumbizza bakansala ne bakkiriziganya bakisindike mu kakiiko kaddemu kakyetegereze nga bamaze n'okwebuuza ku minisita Beti Kamya. Olukiiko era lutadde dayirekita Andrew Mubiru Kitaka ku nninga annyonnyole baani abaamenya ofiisi z'ekitongole ne babba ebyama era kiki kyakozeewo okukwata abantu bano.

Mu myezi ebiri, ababbi baamenya ofiisi ezeenjawulo emirundi esatu ne babba kompyuta ezisoba mu 10 n'okwonoona ebiwandiiko, kyokka bakansala beewuunyizza bwe baategeezeddwa nti kamera eziri mu kizimbe tezikola. Kitaka yabasomedde lipooti omuli by'akoze n'agamba nti baataddemu kkamera empya mu kizimbe n'abakozi ne baweebwa ebiragiro ku budde bwe balina okukoleramu nga bambega ba poliisi banonyereza ku bubbi obwaliwo.

Bakansala baamulagidde ayimirize abamu ku bakozi abanonyerezebwaako ate n'ebyama bya KCCA babifunire enkola eyenjawulo gye babikuumamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...