TOP

Abatuuze balumbye poliisi lwa babbi

Added 22nd August 2019

Abatuuze balumbye poliisi lwa babbi

 Poliisi ng’etaasa Nsubuga eyakwatiddwa mu bubbi.

Poliisi ng’etaasa Nsubuga eyakwatiddwa mu bubbi.

ABATUUZE mu ggombolola y'e Ngogwe mu disitulikiti y'e Buikwe bavudde mu mbeera ne balumba poliisi y'e Nkokonjeru ebawe abavubuka abagambibwa okutigomya ebyalo n'okubabbira Vanilla.

Bano okuva mu mbeera kyaddiridde obubbi okweyongera mu kitundu kyabwe nga bwekuusa ku kubbibwako emmere, ebisolo, vanilla n'ebintu ebirala. Abatuuze baazingizza abavubuka bano okukkakkana nga bakutteko Charles Nsubuga 28 ate abalala babiri ne beemulula ne badduka.

Deo Ssekanjakko omutuuze w'e Maseke ekisangibwa mu Ggombolola y'e Ngogwe yategeezezza nti abavubuka bano vanilla gwe baakamubbako ku musiri tamanyiddwa muwendo kuba babaddenga bamunoga tannatuusa kiseera kya kumukungula.

Yagambye nti okukwatibwa kwa Nsubuga kugenda kumuyamba okulondoola abalala abazze bamubba n'abamubagulako. Abatuuze baagenze mu maaso ne bakunguzza Nsubuga nga bwe bamwetoolooza ebyalo okusobola okubalaga gy'abaddenga atunda ebintu by'azze ababbako eno nga bwe bamukuba.

Poliisi y'e Nkokonjeru ng'ekulembeddwaamu, Moses Enyeru yataasizza Nsubuga n'emuggya ku batuuze n'emutwala ku poliisi gye yagguddwaako omusango gw'obubbi ku fayiro nnamba SD 14/20/08/2019.

Abudallah Nabende ssentebe w'abalimi ba vanilla mu Ggombolola eno yategeezezza nti Gavumenti esaanye okusaawo empenda abalimi ba vanilla mwe basobola okuyambibwa okutangira obubbi bwa vanilla kuba bususse.

Abasajja babiri, Edward Balireta ne Innocent Kagimu mu kitundu kye kimu baakwatiddwa nga kigambibwa nti baliko emmere n'emiti gya Shafik Mwanje omutuuze w'e Kikwaya gye babbye. Bano nabo oluvannyuma baagattiddwa ku Nsubuga ne baggalirwa ku poliisi e Njeru nga balindiridde fayiro zaabwe kuzisindika mu kkooti.

Gideon Wakibuga ssentebe wa Kikwaya yategeezezza nti abavubuka bangi mu kitundu kye tebakyakola oluvannyuma lw'okwabulira omwalo gw'e Namazina gye baakoleranga egy'obuvubi.

Yasabye Gavumenti okwongera amaanyi ku mwalo gwabwe basobole okulwanyisa envuba embi ekivuddeko ebyennyanja okubula n'agamba nti y'emu ku ngeri abavubuka bano gye bayinza okufunamu emirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...