TOP

Abatuuze balumbye poliisi lwa babbi

Added 22nd August 2019

Abatuuze balumbye poliisi lwa babbi

 Ekitundu ekiwedde ku katale k’ewa Kisekka.

Ekitundu ekiwedde ku katale k’ewa Kisekka.

ABAKULIRA abasuubuzi b'ewa Kisekka bakkirizza buli musuubuzi alina edduuka eriwedde ku kizimbe kya Block A, okutandika okuteekako ekipande kye kubanga ebisinga biwedde nga balina kuyingira nga September 1,2019.

Omwogezi w'akatale kano, Simon Peter Lubwama yategeezezza nti obuwanguzi buno bw'abasuubuzi. Basobodde okumaliriza amaduuka 168 olwo n'asekerera abaali balwanyisa enkulaakulana eno.

Okuzimba amaduuka gano kuzze kubaamu okusika omuguwa okumala ebbanga ng'ekiwayi ky'abasuubuzi ekimu kiwakanya enteekateeka eno gye bagamba nti yali egenderera kufiiriza basuubuzi kyokka ng'oludda olulala lugamba nti ekikolebwa kye kituufu.

Mu kiseera kino abasuubuzi abamu baatandise dda okussaamu amasa n'ebipande ku maduuka gaabwe.

Bagamba nti okuggyako okuteekamu amasannyalaze ebisigadde kyenkana biwedde. Lubwama yagambye nti kati bagenda kudda ku Block B, ekola omutendera ogusooka omujjuvu ogw'amaduuka 530.

Yayongeddeko nti abasuubuzi b'ewa Kisekka abeegattira mu kibiina kya "Nakivubo Road, Old.Kampala, Kisekka Market Venders Ltd" bali 1,858, nga bano buli omu yamala dda okusasula ssente ezimufuula mmemba 50,000/-.

Era ku bano bammemba 168, abaasooka okumalayo ssente zaabwe buli omu okusinzira ku bunene bw'edduuka baafuna dda amaduuka gaabwe era oluyingira buli omu amanyi awaamuweebwa.

Nti era n'abalala amaduuka gaabwe agatannaggwa bamativu nti, Block B n'endala buli enagwa nga buli omu afuna edduuka lye kubanga buli omu alimanyi okusinziira ku pulani y'akatale. Abasuubuzi bano oluvannyuma lw'okulaba ng'omulimu gutambula waliwo abeekozemuobubiina obutono nga "Kamu kamu" bano bali 114, baasonda emitwalo gya ddoola mukaaga okufuna kaabuyonjo ku "Block A.

Yagambye nti kuliko n'ebibiina ebirala nga Royal Friends, bali 30, Kisekka Market Former Leaders, bali 30, beekutte obuduuka 10, obutono. Lubwama yagumizza abasuubuzi abatannamalayo ssente nti bagende mu maaso n'okusonda kubanga ettaka balina ddene liwezaako yiika 3 n'ekitundu.

Yagambye nti kkampuni ya ROKO omulimu guno gwonna egenda kuguzimbira obukadde bwa doola doola 23 n'omusobyo, nga baakagisasulako ddoola 8,200,000 (eza wano 30,750,000,000/)- gattako emisoso emirala ng'okugula ettaka 1,520.000,000/- , okusasula ssente za busuulu okuva mu 2012 buli mwaka obukadde 76, balooya baakatwala obukadde nga 400 n'endala ezisasuddwa ku bintu ebirala.

Akulira okuzimba akatale kano okuva mu kkampuni ya ROKO Construction Ltd, Ying. Allan Muganzi yakakkasiza abasuubuzi nti omulimu we gutuuse

Kampala, Kisekka Market Venders Ltd” bali 1,858, nga bano buli omu yamala dda okusasula ssente ezimufuula mmemba 50,000/-. Era ku bano bammemba 168, abaasooka okumalayo ssente zaabwe buli omu okusinzira ku bunene bw’edduuka baafuna dda amaduuka gaabwe era oluyingira buli omu amanyi awaamuweebwa. Nti era n’abalala amaduuka gaabwe agatannaggwa bamativu nti, Block B n’endala buli enagwa nga buli omu afuna edduuka lye kubanga buli omu alimanyi okusinziira ku pulani y’akatale. Abasuubuzi bano oluvannyuma lw’okulaba ng’omulimu gutambula waliwo abeekozemuobubiina obutono nga “Kamu kamu” bano bali 114, baasonda emitwalo gya ddoola mukaaga okufuna kaabuyonjo ku “Block A. Yagambye nti kuliko n’ebibiina ebirala nga Royal Friends, bali 30, Kisekka Market Former Leaders, bali 30, beekutte obuduuka 10, obutono. Lubwama yagumizza abasuubuzi abatannamalayo ssente nti bagende mu maaso n’okusonda kubanga ettaka balina ddene liwezaako yiika 3 n’ekitundu. Yagambye nti kkampuni ya ROKO omulimu guno gwonna egenda kuguzimbira obukadde bwa doola doola 23 n’omusobyo, nga baakagisasulako ddoola 8,200,000 (eza wano 30,750,000,000/)- gattako emisoso emirala ng’okugula ettaka 1,520.000,000/- , okusasula ssente za busuulu okuva mu 2012 buli mwaka obukadde 76, balooya baakatwala obukadde nga 400 n’endala ezisasuddwa ku bintu ebirala. Akulira okuzimba akatale kano okuva mu kkampuni ya ROKO Construction Ltd, Ying. Allan Muganzi yakakkasiza abasuubuzi nti omulimu we gutuuse

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutume John Bungo ne Bp. Joel Kakembo nga boogerezeganya mu lukung'aana lw'okusaba

Musabire eggwanga nga twete...

Abasumba okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo babanguddwa ku ngeri gye basobola okulung'amyamu ekisibo kya...

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...