TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balumbye poliisi bagiggyeko gwe baakutte ne boda enzibe

Balumbye poliisi bagiggyeko gwe baakutte ne boda enzibe

Added 22nd August 2019

Balumbye poliisi bagiggyeko gwe baakutte ne boda enzibe

Abatuuze wamu n'abavuzi ba bodaboda ku kyalo Manyangwa ekisangibwa mu muluka gw'e Kabubbu mu Town Council y'e Kasangati bavudde mu mbeera ne balumba poliisi y'e Manyangwa nga baagala kugiggyako agambibwa okuba omubbi wa bodaboda, bamwekolereko.

Omuvubuka ono Ashiraf Elya eyeeyita ‘Geyeena' agambibwa okubeera omubbi wa bodaboda ye yasimattuse abatuuze. Kiddiridde okukwatibwa lubona ne pikipiki nnamba UDT 270D nga talina bigyogerako kyokka nga baludde nga baginoonya. Kigambibwa nti pikipiki eno nnyiniyo yali yagiwa omuvubuka Abel Busuulwa kyokka n'emubulako era ne batandikirawo omuyiggo.

Aba bodaboda ku siteegi ya Manyangwa be baalabye Elya ng'alina omusaabaze gw'aweese ne bamuyimiriza ne bamukwata ne bamutwala ku poliisi y'e Manyangwa. Aba boda abalala olwakitegedde ne beeyiwa ku poliisi eno nga baagala emubawe bamwekolereko nga bwe baleekaanira waggulu nti baakoowa ababbi ba boda, kyokka poliisi n'ebalemesa.

James Kateregga Ssentebe w'ekyalo Manyangwa B wano we yasabidde abavubuka okwewala okukozesa ebiragalalagala ng'enjaga nti bye bibatuma okukola ebintu ebifaanana bwe bityo era yasabye abavubuka okukola ennyo n'agamba nti bagenda kukola ekikwekweto okunoonya buli muvubuka abantu gwe beemulugunyaako bamuggalire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...