TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ba Imam balabuddwaku kuwoowa abaana abatanneetuuka

Ba Imam balabuddwaku kuwoowa abaana abatanneetuuka

Added 22nd August 2019

Ba Imam balabuddwaku kuwoowa abaana abatanneetuuka

DISITULIKITI Khadi w'e Lwengo, Sheikh Ibrahim Ismael Kibuule agugumbudde ba Imam b'emizigiti egiri mu Lwengo abagufudde omuze okuwoowa n'okufumbiza abaana abatanneetuuka.

Abalabudde okubasiba awatali kuttira muntu ku liiso kiyambeko abalala abeekwese okukikomya kuba be bavuddeko okuvumaganya eddiini n'obungi bw'abaana abawanduka mu masomero okweyongera. "Kitalo nnyo okusanga Imam omulamba nga ggwe akuliddemu emikolo gy'okuwoowa omwana ow'emyaka 14, bannange obwo bukulembeze nnabaki?!

Lwaki totemya ku b'obuyinza ne bakwata abazadde b'omwana oyo eggwanga ne litereera? Nze mu buweereza bwange ebyo sigenda ku bikkiriza era bw'oba omanyi nti olina omwana gw'oyagala okuwandula mu ssomero omufumbize ng'olulunkanira omwenge ne busukaali bikusaze," Sheikh Kibuule bwe yalabudde.

Bino yabyogedde alambika abakulu b'amatwale ne ba Imam b'e Lwengo ng'abalaga ebyo by'ateekeddwa okusookerako okukola oluvannyuma lw'okutuuzibwa ku bwa Khadhi obujjuvu wiiki ejja nga August 28. Kino kiddiridde ba Imaam babiri abaakwatibwa nga bawoowa abaana abatanneetuuka mu ggombolola y'e Lwengo nga bano bawerennemba n'emisango.

Bo Abasiraamu baamuloopedde nga bwe bakooye enkaayana z'Obusiraamu n'abasuubiza nga bwagenda okukinogera eddagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...