TOP

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Added 23rd August 2019

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

POLIISI e Matugga ekutte n'eggalira omusajja abadde abba ATM z'abantu ababeera bayingidde okuggyayo ssente zaabwe mu byuma bya bbanka.

Julius Atukwasa 30, omutuuze w'e Bushenyi okukwatibwa kyaddiridde omukyala okumusanga okumpi ne ATM e Matugga nga ono yabadde alinze kunyaga ATM z'abantu abalala wabula omukyala ayategeerekeseeko erya Sharon bwe yamulabye kwe kukuba enduulu eyasombodde abatuuze kuba yali yamunyagako ATM ye.

Ono yagambye nti abantu abamu babeera tebamanyi kukozesa byuma nga y'ensonga lwaki banyagibwa wabula ng'abasinga obungi babeerako ne ssente ntono. Ono bwe yategedde nti bamuguddemu yayagadde okudduka wabula ne bamugoba ne bamukwata abatuuze kwe kumutwala ku poliisi y'e Matugga.

Atukwasa agambye nti abadde atera kubbira mu bbanka okuli, Centenary, Stanbic n'endala ng'abaamukutte baamusanze ne ATM z'abantu abalala kyokka nazo ne bagenda nazo.

Atwala poliisi y'e Matugga, Bosco Patrick Obotol yagambye nti Atukwasa bagenda kumuggulako emisango egy'enjawulo wabula n'alabula abantu okwewala okumala gakkiriza abantu be batamanyi okubeesemberera nga baggyayo ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aboobuyinza nga bakunya omukazi.

Abatunda eddagala nga tebal...

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikoze eki kwekweto mu Buvanjuba...

Minisita Betty Amongi

Abasuubuzi be Nakasero bawa...

ABASUUBUZI ababadde baddukanya akatale k'e Nakasero bavudde mu mbeera ne bawa minisita wa Kampala n'ekitongole...

Nsereko Mutumba

Hajji Mutumba alabudde abak...

ABADDE omwogezi w'ekitebe ky'Obusiraamu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme Council Hajji Nsereko Mutumba...

Abatuuze nga bali mu kkooti e Nabweru.

Abakolera ku ttaka lya Gavu...

OMULAMUZI ow'eddaala erisooka ku kkooti y'e Nabweru, Ssanyu Nalwanga Mukasa akkirizza abantu 17, abaakwatibwa ku...

Most Venerable Bhante Buddharakkhita (Kaboggoza mu byambalo ebiwanvu) ng’ ayimiridde n’abatuuze wamu n’abakulembeze .

Bannabayabufuzi mutuyambe t...

ABATUUZE b'e Ntebe mu butundu by'e Nakiwogo, Lugonjo balaajanidde Pulezidenti Museveni n'abazirakisa okubayamba...