TOP

Abawala 98 banunuddwa ku babadde babakukusa

Added 24th August 2019

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.

 Magaya Mango

Magaya Mango

Bya MARGRET ZALWANGO
 
ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.
 
Abawala bano nga baggyibwa mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo baasangiddwa ku kitebe kya kkampuni eya Khaleej Agencies e Namasuba mu muluka gw'e Kabowa. Kigambibwa nti baabadde baatwalibwa mu bukyamu.
 
Poliisi ng'ekulembeddwaamu akakiiko ka State House Anti Corruption Unit baazinzeeko ekifo kino oluvannyuma lw'okufuna amawulire nti waliwo abawala abagenda okutwalibwa kyokka nga bayita mu makubo makyamu.
 
Ofiisi ya Lt Col Edith Nakalema akulira okulwanyisa enguzi be baafunye essimu nga babagamba nti abawala bano bagenda kufulumizibwa eggwanga olwo ne basitukiramu.
Abawala bano baasangiddwa ng'abamu bamaze okutegeka ebintu byabwe nga balinze kusitula.
 
Baategeezezza nti bagenda kukola bwayaaya mu nsi ez'enjawulo mu Buwalabu gye batwalibwa.
 
Mu nnyumba ya mizigo ebiri gye baabadde basuzibwa ku bufaliso obutono ddala. Kino abakulu kwe baasinzidde okunzingako kkampuni eno.
 
Mango Magaya akulira kkampuni eno yategeezezza nti kkampuni yaabwe erina olukusa okutwala abantu ebweru okukola era nga beewuunya lwaki abakulu bazze ne bazingako kkampuni yaabwe.
 
Ono era yagambye nti abawala babadde basula bulungi ate nga balya bulungi .Yayongeddeko nti bano batwalibwa ku bwereere nga tebagiddwaako ssente wabula n'ategeeza nti engeri bo aba kkampuni gye bafunamu ku bantu be batwalira obwereere tayinza kugyogera.
 
Ku myaka kkampuni eno gyemaze ng'etwala abantu ebweru, baakatwala abawala abasoba mu 1000 era bonna bali bulungi.
 
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiraraano, Patrick Onyango yagambye nti wadde kkampuni eno erina layisinsi, abagikulira baakutwalibwa ku poliisi bakole sitetimenti n'abawala abaasangiddwa ku kkampuni eno.
 
Abawala bonna bateekeddwa mu bbaasi za poliisi ne batwalibwa ku kitebe kya bambega e Kibuli gye baasuze ng'okunonyereza bwe kugenda mu maaso.
Lt Col Nakalema yaggulawo ekikwekweto okuzingiza kkampuni ez'epicupuli ezitwala abantu ebweru n'okubabbako ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnayuganda abadde amansa ...

“Bannayuganda abasukka mu 20 be baakafa Corona e South Africa okuli; Caroline Nantongo abadde amanyiddwa nga Hajjati...

Gav't etumizza ekyuma ekyey...

GAVUMENTI etumizza ekyuma ekifulumya kemiko ezeeyambisibwa mu kukebera obulwadde bwa Corona n’endwadde endala....

Male Mabirizi

Mabirizi attunse ne Ssaabaw...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi asabye kkooti ya East Africa ezzeewo ekkomo ku myaka gya pulezidenti kubanga palamenti...

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....