TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Abayimbi Bannayuganda battunse n'Abajamaica mu kukuba emiziki

Abayimbi Bannayuganda battunse n'Abajamaica mu kukuba emiziki

Added 24th August 2019

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

 Christopher Martin ng'ayimba

Christopher Martin ng'ayimba

BANNAYUGANDA bannyumiddwa emiziki gy'Abajamica: Christopher Martin ne D-Major mu kivvulu kya ‘Bell All Star Concert' ekyabadde e Lugogo ku Lwokutaano ekiro.

Ng'oggyeeko okucamula abadigize n'emiziki gye baabakubidde, nabo baanyumiddwa Uganda ennaku ze bamaze kuno olw'ebyana obwedda ebibasoomooza n'ennyambala.

D - Major ye yasoose okugamba nga Uganda bwemunyumidde era ayagala kufunamu ennyumba gafuuke amaka ge ag'okubiri ate Christopher Martins obwedda ayimba asiriikirizaamu nga bw'ayogera Oluganda olw'ebitege n'okuwaana abawala Bannayuganda.

Ng'oggyeeko omulamwa gw'abategesi b'ekivvulu kino ogw'okuwa bamusaayimuto akadaala okwolesezaako ebitone byabwe, wabadde oyinza okulowooza bali mu mpaka z'ani asinga okukuba emiziki wakati w'abayimbi baakuno n'Abajamica.

Abayimbi baakuno okuli; Spice Diana, Sheebah, Winnie Nwagi, Fefe Busi, John Blaq, Vinka, Kenneth Mugabi, Fik Fiemica, Choozen Blood, Kenneth Mugabi n'abalala be basoosewo era bano wabadde oyinza okulowooza bali mu mpaka z'ani asinga okuyimba wadde nga abamu batawanyiziddwa nnyo okuyimba ‘layivu'. 

Oluvannyuma D-Major yalinye ku siteegi ku ssaawa 5:00 ez'ekiro ono olwavuddeko Christopher Martin yakigadde. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono