TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kasirye Ggwanga akubye loole y'emiti endala emipiira amasasi

Kasirye Ggwanga akubye loole y'emiti endala emipiira amasasi

Added 27th August 2019

Kasirye Ggwanga akubye loole y’emiti endala emipiira amasasi

 Kasirye Ggwanga

Kasirye Ggwanga

MUNNAMAGYE eyawummula Maj. Gen. Samuel Kasirye Gwanga ayongedde okutaama bw'aggyeyo emmundu n'akuba loole endala ekubyeko emiti gya kalittunsi n'agyabya emipiira ddereeva waayo n'agibuukamu n'adduka kiwalazima.

Okukuba loole eno amasasi, Kasirye Ggwanga yabadde atuukiriza kye yalaalise wiiki ssatu eziyise nga yaakamala okusindirira loole endala amasasi n'awera nti waakiri okufiirawo naye tajja kukkiriza bantu abava mu bitundu byabwe ne batema ebibira mu Buganda. "Nga nkyalina emmundu yange sijja kukkiriza bantu kutema bibira byaffe ne basimbamu kalittunsi ne payini ate emiti nagyo ne bagitunda nga mito.

"Oyinza okukikkiriza nti abaasaanyawo ebibira baasooka kubigobamu bantu baffe abanaku abanoonya ekyokulya", Kasirye Ggwanga bwe yategeeza nga August 10, 2019 nga yaakamala okusindirira Loole Isuzu UAW 232K amasasi gye yateega e Kajogi mu ggombolola y'e Maanyi e Mityana ng'etisse emiti kya kalittunsi. Ku mulundi guno, Kasirye Ggwanga yayongedde okukambuwala okusingako ku mulundi ogwasooka bwe yayimirizza loole ey'ekika kya Fuso nnamba UAR 234M, ddereeva bwe yagaanyi okuyimirira n'agisasira masasi.

Bino byabadde ku kyalo Kajoji, mu ggombolola y'e Maanyi mu Ssaza lye Busujju mu disitulikiti y'e Mityana, okumpi n'ekitundu Kasirye Ggwanga w'alina amaka ge, ku kyalo Nkene, g'ayita ‘Camp David'.

EYASIMATTUSE AMASASI ALOJJA Nnannyini miti, Gerald Wambi yagambye nti emiti yagitemye mu bibira bye ebyenjawulo ku kyalo Kigogolo mu ggombolola y'e Maanyi era alina olukusa olumukkiriza okutema emiti. "Olw'embeera embi ey'amakubo, twasoose kuttikako emiti mitono bwe tugisomba okugituusa ku kkubo eddene nga bwe tunona emirala era wano we yatulabidde,". "Baabadde baakateekako emiti 136, Ggwanga n'abasanga n'asooka akuba emipiira ebiri amasasi ddereeva n'abakozi ne babuna emiwabo".

Wambi agamba nti bwe baawulidde ebibwatuka baabadde balowooza nti emipiira gyabise kyokka bwe yalabye abakozi nga badduka naye n'adduka era baakomyewo luvannyuma nga Ggwanga avuddewo kyokka ng'abantu bali ku bunkenke. Wambi agamba nti baabadde baakavaawo Kasirye Ggwanga naddayo n'atandika okunoonya bannannyini mmotoka.

Kigambibwa nti yagiggudde n'akebera ne mu mito nga talabamu bantu era ekyadiridde, kwe kwongera n'agikuba emipiira emirala ne gituula. Wambi bwe yadduse yasibidde ku poliisi e Maanyi n'aggulawo omusango ku Kasirye Ggwanga ogw'okumwonoonera mmotoka oguli ku fayiro SD:07/24/08/2019.

Wambi yagezezzaako okusaba poliisi emuwe obukuumi okuggyayo mmotoka kyokka poliisi teyamuyambye.

KASIRYE GGWANGA AWERA Kasirye Ggwanga yayongedde okuwera nti abantu baweebwa liizi mu bibira e Busujju kyokka kino kyakolwa mu bukyamu.

Yalabudde nti abantu bangi bagobwa mu bibira, kyokka abatono ennyo abaweebwa liizi ku ssente entono, ate ne basimba kalittunsi, nga kati atandise okukaza ekitundu. Yawadde ekyokulabirako ekye nzizi ezitandise okukalira, n'agamba tni kino kye kiseera okulwanirira obutonde bw'ensi. Yaweze nti abo bonna abagenda nebasimbayo kalittunsi, tebageza ne bagenda okumutemayo.

NNANNYINI MMOTOKA ATIDDE Wambi yasabye Gavumenti emuyambe afune obukuumi okuggyayo mmotoka ye kubanga mu kifo w'eri eyinza okubbibwamu ebyuma.

Yagambye nti ettaka lye yaligula ku muntu buntu ku kyalo Kigogolo era ekibanja ekimu kyalimu kalittunsi nga kati atandise okumutema. Embeera yabadde ya bunkenke ku byalo bino awakubiddwa mmotoka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....

Bebe Cool.

Bebe Cool alabudde Nubian L...

Bebe Cool alabudde omuyimbi Nubian Lee ne Pulodyusa Dan Magic n'abasaba okukomya okwenyigira mu bikolwa ebisoomooza...

Dr. Mugisha ng'annyonnyola ebya kokoolo.

▶️ Abaafa kokoolo w'obusajj...

Okusinziira ku Dr. Noleb Mugisha omukugu mu kujjanjaba kookolo mu ddwaaliro lya kookolo erya Uganda Cancer Institute...

Abagole nga bali ne Katikkiro wa Buganda, Charles Mayiga.

Katikkiro asiimye Wessaali ...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Obwakabaka bussa nnyo ekitiibwa mu bufumbo ng'eno y'emu ku...