TOP

Kkooti eragidde Bbanka Enkulu esasule Sudhir

Added 27th August 2019

Kkooti eragidde Bbanka Enkulu esasule Sudhir

 Sudhir Ruparelia

Sudhir Ruparelia

KKOOTI etawulula enkaayana z'ebyobusuubuzi egobye omusango Banka Enkulu ng'eri ne Crane bank eyaggalwa gwe yawawaabira Sudhir Ruparelia okukomyawo ssente obuwumbi 397 ezigambibwa nti Sudhir yaziggya mu ‘Crane bank' ekyagiviirako okugwa.

Kkooti era eragidde Banka Enkulu okusasula Sudhir ssente z'asaasaanyizza ku musango gwe yawaaba ng'awakanya okumusasuza ssente ezo kubanga banka ye eya Crane mu mateeka yali tesobola kumuvunaana mu kiseera kye kimu nga yali emaze okutwalibwa Bank of Uganda.

Bank Enkulu yawawaabira Sudhir ne kkampuni ye eya Meera Investments nti baggya ssente mu Crane Bank eziwera 397 ne bazikozesa mu bizinensi za Sudhir ez'enjawulo.

Kyokka Sudhir n'alemesa omusango okuwulirwa naye bwe yateekayo omulala ng'ali ne Meera Investments nga bawawaabira Crane Bank nga bagamba nti terina buyinza wadde obusobozi okuwawaabira omuntu yenna kubanga tekyaliwo mu mateeka. Crane Bank yafa kati agivunaana aba awawaabira muzimu.

Bank of Uganda yeddiza Crane Bank nga October 20, 2016 oluvannyuma n'egiguza DFCU nga January 24, 2017. Omulamuzi David Wangutusi yagambye nti mu 2017, DFCU yali emaze okugula Crane Bank n'ebyobugagga byayo byonna ekitegeeza nti Crane Bank yali tekyaliwo. Mu mbeera eno Crane Bank yali tesobola kuwaaba wadde okuwawaabirwa oba okulagirwa yeewozeeko.

Yagasseeko nti olw'okuba Crane Bank, Sudhir ne kkampuni ye eya Meera Investments zaaleetebwa mu bukyamu mu kkooti, Banka Enkulu erina okubaliyirira ssente zonna ze basaasaanyizza mu kkooti nga bawoza omusango guno mu bukyamu.

Sudhir eyabadde mu kkooti, oluvannyuma yagambye nti agenda kutwala Banka Enkulu mu kkooti okumwonoonera obudde ng'emugatta ku misango gy'atalina kubaamu. Era agenda kuggulawo n'omusango omulala ng'awakanya okutwala banka ye.

Ensala ya kkooti ekomekkereza olutalo wakati wa Banka Enkulu ne Sudhir olumaze emyaka ebiri. Aba Banka Enkulu nabo baategeezezza nti bagenda kujulira kubanga tebakkiriziganya na nsala ya kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...