TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavumenti esabiddwa okussa abasawo b'ebiwangwa mu malwaliro

Gavumenti esabiddwa okussa abasawo b'ebiwangwa mu malwaliro

Added 27th August 2019

Gavumenti esabiddwa okussa abasawo b'ebiwangwa mu malwaliro

ABASAWO muddwaliro lye Kayunga basabye gavumenti okuteeka abasawo b'ebiwanga mu malwaliro gaayo okujjanjaba abalina ebirwadde bye biwanga

Bino by'ayogeddwa  Dr  Asaph Tomusange  omukugu   mu kujjanjaba endwadde z'ebiwanga mu ddwaliro e Kayunga  yasinzidde   ku ddwaliro lye Busaana Healthe Centre III mu disitulikiti ye Kayunga mu kujjanjaba  endwadde z'ebiwanga ku bwerere  ng'ali wamu n'abasawo b'e Mulago.

Tomusange yategeezezza nti okunoonyereza kulaga abalina ebirwadde by'ekiwanga bangi wabula mu malwaliro ga Gavumenti teriiyo basawo babijjanjaba  ezimu ku nddwadde  z'ekiwanga kuliko Obutawulira, Okuziyira , Okufuluuta¸Obutawunyirizza , Okulumizibwa mu mimiro , Okulumizibwa omutwe ogw'olutentezi , Ekibobe , okuva amasira mu matu n'ebirala.

Yayongeddeko nti oluvannyuma lw'okukizuula nti  balina obuzibu buno yatandika kaweefube w'okunoonya bazira kisa   ne bamuwa eddagala ly'ekiwanga    ly'akozesa  mu okujjaba  abalwadde b'ekiwanga mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo .

"Abantu bamufuna mpola balina ebirwadde by'eby'ekiwanga naye tebalina bujjanjabi kuba mu malwaliro ga Gavumenti teriiyo basawo babijjanjjaba , tusaba minisituule y'eby'obulamu  etunule mu nsonga eno" Tomusange bwe yategeezezza

Abatuuze b'e Busaana n'ebyalo ebirala bajjanjabiddwa endwadde ezenjawulo nga n'abakyala baakebeddwa Kansa wa nabaana , okukomola , n'ebirala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'ewa Kisekka bazzeemu oku...

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose ewa Kisekka nga poliisi egumbulula abasuubuzi ababadde bakedde okwegugunga nga...

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abatuuze gwe balumiriza oku...

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa...