TOP

Engeri gye basse musajja wa Kagame

Added 28th August 2019

Engeri gye basse musajja wa Kagame

 Baziga baamuttidde mu mmotoka ye eno.

Baziga baamuttidde mu mmotoka ye eno.

MUSAJJA wa Paul Kagame abadde amukettera ebweru w'eggwanga, abazigu bamukubye ebyasi ebimuttiddewo. Okumutta kiddiridde okwemulugunya okuva mu Banyarwanda abadduka mu Kigali ne beebudamya mu South Afrika, Zambia, Zimbabwe, Namibia ne Mozambique nga bagamba nti Kagame abasindikira basajja be ababalondoola...

Louis Baziga baamuttidde mu kibuga Maputo ekya Mozambique bwe baamuzingizza ng'ali mu mmotoka yaakasimbula awaka ne bamukuba amasasi ataano mu mutwe ne mu kifuba. Baziga abadde amakanda yagakuba mu kibuga Maputo ekya Mozambique gy'abadde asinziira okukolera ekitongole kya Rwanda ekikessi ekya National Intelligence and Security Services (NISS).

Emirimu egy'obukessi, abadde agikola nga yeerimbise mu byabusuubuzi. Kigambibwa nti ali mu kabinja ka basajja ba Kagame ak'omunda akakola ‘misoni' ez'akabi. Era abadde ne ofi isi ey'enjawulo ku kitebe ky'omubaka wa Rwanda mu nsi eyo.

Kigambibwa nti ayogera ne Kagame butereevu ng'akozesa essimu y'omukulu ey'ekyama ‘hotline'. Mu kibuga Maputo, amanyiddwa nnyo ng'omusuubuzi omututumufu era ng'alina bizinensi ez'enjawulo omuli n'edduuka ly'eddagala.

Omulimu omutongole ogwayanjulirwa Gavumenti ya Mozambique gw'abadde akola gwa ssentebe w'ekibiina ekigatta n'okukwanaganya Abanyarwanda abali mu kitundu ekyo ekya Rwanda Diaspora Association in Mozambique.

Abadde nnyo mu misoni z'obutemu okuli okwegeza mu kutemula eyali Chief of Staff wa Rwanda, Gen. Kayumba Nyamwasa e South Afrika mu 2010. Mu 2014 omusajja y'omu yali mu lukwe okutemula Col. Patrick Karegyeya e South Afrika.

Gavumenti ya South Afrika yakola okubuuliriza n'ezuula nga Ambasada wa Rwanda mu ggwanga eryo Claude Nikobisanzwe yali mu lukwe. Baamugoba n'addayo e Rwanda. Kyokka mu June wa 2019, Rwanda bwe yagguddewo ekitebe e Mozambique, Claude Nikobisanzwe yasindikiddwa okukikulira.

Eno yasisinkanye musajja we Baziga eyattiddwa. Claude Nikobisanzwe yagambye omukutu gwa leediyo ya Bungereza eya BBC, nti abaakubye Baziga amasasi badduse era tebannategeerekeka.

N'agamba: Baamuzingizza mu ssaawa z'amalya g'ekyemisana ku Mmande ng'ava mu maka ge e Matola. Okuttibwa kwa Baziga yakiyise kkonde ddene nnyo eri Gavumenti ya Kagame kubanga y'abadde (Baziga) akulira Abanyarwanda bonna ababeera mu Mozambique. Nga yaakakubwa amasasi, Baziga baamuyoddeyodde n'atwalibwa mu ddwaaliro ng'ataaawa kyokka n'akutuka nga yaakatuusibwayo.

Omugenzi okugenda e Mozambique yali yabeerayo ko dda, oluvannyuma lw'ekittabantu ekyali e Rwanda mu 1994. Waliwo ebigambibwa nti Baziga okuttibwa kwabadde kuwolera ggwanga.

Mu October 2012 , Théogène Turatsinze, omusuubuzi omulala okuva e Rwanda era eyali akulira Rwanda Development Bank yawambibwa e Maputo, oluvannyuma omulambo gwe ne gusangibwa nga gutengejja ku nnyanja.

Ono yali munoonyi wa bubudamu. Kigambibwa nti basajja ba Kagame be baamutta. Waliwo ebigambibwa nti okutta Baziga kwabadde kwesasuza olw'omusajja oyo.

Waliwo ebigambibwa nti abaamusse bali mu kabinja akeeyita J3 akagambibwa nti Kagame y'akassaamu ssente okulondoola abamuwakanya abaddukira mu mawanga amalala. Lwaki ate basse munnaabwe?

Kigambibwa nti oluvannyuma lwa Rwanda okumukozesa misoni ennyingi bakizudde nga takyali wa mugaso, ng'asinze kwemalira ku busuubuzi na kugoba ddiiru za ssente ate ng'amanyi ebyama bingi "ng'alina okuvaawo". Kyokka era waliwo ebigambibwa nti yabadde afunye obutakkaanya ne Ambasada Claude Nikobisanzwe era Ambasada yabadde amukozeeko lipoota gye yaweerezza e Kigali eraga nti aliko abalabe ba Kagame abali e South Afrika b'asomolera ebyama.

ABAMU KU BANNANSI BA RWANDA ABATEMUDDWA KU MAWANGA

1.Camir Nkurunziza: Eyali omukuumi wa Pulezidenti Paul Kagame yakubwa amasasi agaamuttirawo nga May 30, 2019 mu kibuga Cape Town mu South Afrika gye yali yawaηηangukira oluvannyuma lw'okwesowolayo ng'awakanya obukulembeze bw'eyali mukama we.

2. Col. Patrick Karegeya 54, eyali ku mbiranye ne Pulezidenti Kagame baamuvumbagira ng'awummuddeko mu wooteeri Michelangelo Towers mu kibuga Johannesburg e South Afrika ne bamutta nga January 1, 2014 nga beeyambisa waaya ez'amasannyalaze.

3. Seth Sendashonga 47, eyali minisita ow'ensonga Ezomunda yatemulwa nga May 16, 1998 mu kibuga Nairobi e Kenya. Abalala kuliko Augustin Bugirimfura eyali omusuubuzi yattibwa Nairobi e Kenya mu 1998, Col. Theoneste Lizinde yali ofi isa mu magye ga Rwanda yatemulwa mu 1997 mu Kenya n'abalal

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....